Amawulire

Omuyizi Bamukutte Afera owa Mobile Money

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2017

No comments

BUIKWE

Bya Ivan Ssenabulya

Police wano e  Buikwe ekutte omuvubuka  asoma eky’omusanvu ku  Nawanende Bright College e Kamuli , nga ono alangibwa gwakusasanya sente za bicupuli

Omukwate wa myaka 18 omutuuze we Kasambira, nga ono kigambibwa nti yanyaga  Faridah Namunsuswa  owa e Kasanje  mu  Njeru Municipality, nga ono yamulimba nti alina amaanyi agakyusa sente nezifuuka enyingi okukakana nga amubye.

Ayogerera police ya Ssezibwa Hellen Butoto, agambye nti omukwate ono yanyaga ensimbi akade kamu  1.9.