Amawulire

Omwana afiridde mu kabenje e Jinja

Ivan Ssenabulya

December 13th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omuntu omu afiriddewo nabalala 6 nebabuuka nebisago mu kabenje akagudde ku kyalo Nakabango mu ggombolola ye Mafubira mu district ye Jinja.

Akabenje kano kabaddemu emmotoka kika kya premio namba UAW425/E ngeno ebadde edda Jinja, wabula neremerera omugoba waayo neyevulungula enfunda eziweze.

Okusinziira ku ssentebbe we kyalo eyerabiddeko Godfrey Kyalo ategezeza nti akabenje kano kuvudde ku kuvuga ndiima.

Omugenzi ye Jesica Kirabo omwana owemyaka 9 ngono mutabani wa John Taligoola omukozi ku kitebbe kya munispaali eye Jinja.

Bonn ababadde mu kabenje kano babadde bamu nnyumba emu nga kubaddeko nomukyala owolubutto, nga mu kaseera kano bali mu ddwaliro ekkulu e Jinja bajanjabibwa.

Yyo poliisi tenafunika okwogera ku kabenje kano.