Amawulire

Sipiika wa palamenti wakusisinkana minista kubya alipoota ye Kasese

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwe gwanga olukulu Jacob Oulanya ayise minister w’ensonga z’omunda mu gwanga, basisinkane ku lw’okubiri lwa wiiki ejja.

Kino kidiridde akakiiko ka palamenti akensonga zomunda mu gwanga okulemererwa okwanja alipoota, eyava mu kunonyererza ku kitta bantu kye Kasese.

Alaze okunyolwa nti newankubadde omumyuka wa ssentebbe wakakiiko Kezekia Mbogo yakaksizza nti alipoota weeri naye telabwako.

Wabula omubaka we Soroti, Angelina Osege agambye nti wagwana wabeewo ekikolebwa ku mubaka ono kubanga yakaksizza nti alipoota weeri naye ate teyanjulwa.