Amawulire

Owa FDC awangudde mu Amuru- abavuganya balabudde

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

FDC woman

Ababaka ba parliament bawadde endowooza ezenjawulo ku kalulu k’omubaka omukyala akikirira district ye Amuru akawanguddwa ab’oludda oluvuganya government.

Munna FDC Lucy Akello yawangudde n’obululu 7,420 ate muna NRM Frances Okilli Amongin nafuna obululu 6,701

Omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi agambye nti kano kabonero akenkukunala akala nti government ya NRM eri mu lusuubo.

Wabula ye omubaka Emmanuel Eriaku agambye nti obutakanya obuli mu kibiina kya NRM, bwebuviridde ekibiina kye okuwangulwa.