Amawulire

Ow’obugaali ajulidde

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Kashaka

Eyali omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu John Kashaka ajulidde.

Ng’ayita mu bannamateeka abakulembeddwaamu Nsubuga Mubiru Kashaka aawakanya eky’okusingibwa omusango n’ekibonerezo ekyamuweebwa

Kashaka n’abalala bataano basingisibwa emisango gy’okwezibika ensimbi z’obugaali

Baweebwa ebibonerezo eby’enjawulo nga biva ku kwebaka e Luzira okumala emyezi abiri okutuuka ku myaka 13 ate nga balina n’okuzza ensimbi zino nga tebannaba kuyimbulwa.