Amawulire

Palamenti Eyongezeddwayo Wakati mu Bbugumu

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Samule Ssebuliba

Omumyuka womukubiriza wa palamenti, Jacob Oulanya awaliriziddwa okwongezaayo olutuula lwa leero, oluvanyuma lwababaka naddala ku ludda oluvuganya gavumenti, okutabanguka.

Ababaka batanudde okulekanira waggulu, nga mpaawo kiyinza kugenda mu maaso.

Oulanya agambye nti tayinza kukubiriza palamenti eyabantu abakaawu.

Kati oluvanyuma ababaka, aboludda oluvuganya gavumenti batanudde okujaganya, nokuyimbira waggulu oluyimba lwe gwanga.

Bano bajjeyo firimbi nebenanika nobuwero obumyufu ku mitwe mungeri yokulga obumu.

Kkyo ekiteeso ekyokusaba oluwummula, okugenda okubaga ebbage erokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga ababaka ba NRM kyegala omumyuka womukubiriza wa palamenti, akyongeddeyo okutuuka wiiki ejja.

Essaawa zibadde 8 neddakiika nga 15, Jacob Olanya natuuka wakati nakalira, nga palamenti yakubyeko dda.

Kati ategezezza nti mu lukiiko lwabaddemu ne mukama we Rebecca Kadaga, basazeewo nti kino bakiwe obudde, bamale okukyekkenneya obulungi.

Bano era  okusalwo bwebati, agambye nti bamaze kufuna, okwemulugunya okuwerako okuva mu bantu babulijjo, nga balajana ku nsonga yeemu, obutataganjula ssemateeka we gwanga.

Mungeri yeemu Oulanya alabudde ababala ba  palamenti ku kukuma omuliro mu bantu, nagamba nti ebigambo ebingi ebyogerwa wano nawali byandivaamu akabi kalenga bagwana okwekomako.