Amawulire

Palamenti Yayimirizza Ebyo’kusengula Paaka ye Mukono

Ivan Ssenabulya

July 22nd, 2017

No comments

MUKONO

Bya Ivan Ssenabulya

Palamenti yayimirizza ebyokumenya amadduuka agali mu kkubo kulwe Jinja, nokusengula paaka ye Mukono, okusobola okugaziya enkulungu egatta oluguudo lwe Kayunga nolwe Jinja.

Kino kyadiridde omubaka wa muniapaali eye Mukono, Betty Nambooze nabumu ku basubuzi okwekubira enduulu eri palamenti nga bagamba nti entekateeka eno erina ebikusikiddwa nebigendererwa ebya’bakulembeze ngabantu okwegaggawaza.

Kati mayor wa munispaali eye Mukono George Fred Kagimu ategezezza Dembe FM nti yafunye ebbaluwa eyimiriza entekateeka eno okuva mu wofiisi ya speaker wa palamenti Rebbecca Kadaga.

Wabula Kagimu agambye nti kya nnaku kubanga bano bwebaali baddukira mu palamenti tebamuwaako ku kiwandiiko ekyalimu okwemulugunya kwabwe.

Aba munisipaali baali basalawo, okusengula paaka eno kubanga ekitundu kiri mu ttaka lya’luguudo nga balagirwa nekitongole kya UNRA basenguke.

Paaka ebadde yakutwalibwa mu kibangirizi kya Njogezi, okuwa ekyanya okugaziya ekibuga nenkulungo.

Wabula mayor we Mukono, ategezezza nti agenda kugondera ekiragiro kya Plamanenti, era yegaanye okuba mu kkobaane nabamu ku basubuzi be Mukono okusengula paaka nebigendererwa byabwe ebyobuntu.

Wabula bannanyini madduuka mu paaka bategezezza nti babaga ekiwandiiko nomubaka wabula, nga kyali kigenda wakulira ekitongole kyebyenguudo ku ngeri yokubaliyirira.

Bano basinzidde mu lukiiko lwebatuzizza mu Collin Hotel e Mukono, nebegaana okuwa omubaka wekitundu ebiwandiiko byokwemulugunya byeyanjula mu palamenti.