Amawulire

poliisi erumirizza Lukwago ne Besigye okupangisa bamalaaya

poliisi erumirizza Lukwago ne Besigye okupangisa bamalaaya

Ali Mivule

May 21st, 2015

No comments

 

Poliisi erumirizza loodi meeya Erias Lukwago n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye nti bapangisa bamalaaya okugyeyambulira buli lwebaba babakwata nga bakuba enkungaana z’enongosereza mu mateeka g’eggwanga.

Aduumira ebikwekweto mu mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi ategezezza nti ababiri bano baagala kutabangula mirembe mu Kampala nga bekwaasa nti babanja nkyukakyuka.
Kaweesi agamba nti baakitegeddeko nga bamalaaya bano bwebaagala okukozesebwa okuttatana erinya lya poliisi nti batyoboola abakyala era bamukaabya abawedde emirimu.

Ono alagidde abaduumira poliisi mu bitundu byonna okukwata ensonga eno n’amaanyi kubanga nga Uganda yetegekera okulonda kwa 2016, teri ajja kukkirizibwa kutabangula mirembe.