Amawulire

Poliisi eweze Bobie Wine kuyimba mu bivvulu

Ivan Ssenabulya

October 18th, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Police eweze omubaka wa Kyandodo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine obutaddamu kuyimba ku kivvulu kyonna okutuusa lwanakomya okukozesa ebivvulu bye mu byobufuzi, naddala okuwakanya okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.

Bwabadde ayogerko naffe, ku kiragiro ekiyisiddwa omuddumizi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Frank Mwesigwa agambye nti omubaka Kyagulanya bweyali e Busaabala jjolyabalamu ate yamaliriza ali mu byabufuzi ebya Tokigwatako.

Mwesigwa agambye nti Bibie Wine alina ekivvulu e Mukono ku Lwomukaaga luno naye, tagenda kukirizibwa kuyimba okujjako ngawandiise neyeyama nti tagenda kwongererayo byabfuzi kubanga birina kukoma mu palamenti.