Amawulire

President akyalemedde ku ky’okuteeka abantu ku kalabba.

Ivan Ssenabulya

January 22nd, 2018

No comments

Bya ben Jumbe .

Omukulembezze we gwanga Yoweri Museveni azzemu okukuggumiza nga bwagenda   okussa  omukono kubiwandiiko ebyokuteeka abantu kubulabba.

Kinajjukirwa nti omukulembezze w’egwanga bweyali afulumya abasirikale wali e luzira yategezza nga bwagenda okuddamu okussa omukono ku biwandiiko by’abasibe abamu nga agamba  nti kino kyakukendezza kubuzzi bw’emisango mu gwanga .

Kati bwabadde  agulawo olukugana lw’abalamuzi olw’omwaka guno wali ku Hotel ya  Speke Resort Munyonyo olunaku olwaleero , president ategezeeza nga eky’okujaawo akalaba bwekivaako obutali butebenkenvu mu gwanga  kale nga   okussa omukono ku biwandiiko bya kalaba kyekijja okuyamba.