Amawulire

Pulezident museveni wakwekebeza Mukenenya

Ali Mivule

November 7th, 2013

No comments

president m7

Mu kawefube ow’okusikiriza abafumbo okwekebeza obulwadde bwa mukenenya, pulezidenti Museveni wakwebeza nga bali ne kabiite we Janat Museveni olunaku lw’enkya.

Ekiwandiiko ekivudde mu kakiiko akakola ku bya mukenenya kiraga nti pulezidenti kino agenda kukikolera ku ddwaliro lye Kiswa erisangibwa e Bugoloobi

Pulezident era wakukozesa akakisa kano, okusaba bannabyabufuzi, abazadde, bannadiini, abakulembeze ku byaalo na buli omu okumanya w’ayimiridde ku nsonga za mukenenya

Yye mukyala we asuubirwa okukubiriza abakyala okwekebeza mukenenya nga bali embuto okwewala okusiiga abaana baabwe akawuka