Amawulire

Shekh Yinus Kamoga asabye okweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Sheik Yunusu kamoga eyali akulira ekiwayi kyaba- Tabliq adukidde mu kooti nga ayagala ayimbulwe awoze nga ava bweru wa komera, nga bwalinda ensala ya kooti ejulirirwamu gyeyateeka omusango mwawakanyiza  ekibonerezi eky’okusibwa amayisa ekyamuweebwa kooti ewozesa egyanagomola.

Ono nga ayita  mubanamateeka be aba Muwema and company advocates, agamba nti akadiye mu myaka, kubanga awezeza 60, songa n’ebirwadde alina ebiwera  omuli ne Ulcers, pressure nebiraa, kale nga emberaye tegwana komera.

Kinajukirwa nti kamoga ono yakaligibwa nabalala 5 , nga bano bebasingisibwa emisango egyokutta abakulembeze babayisiramu.

Mukaseera kano kooti tenateekawo lunaku lwegenda okwulirirako omusango gwe.