Amawulire

Ssabasajja Akungubagidde Ssenga we Omumbejja Muggale

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 akungubagidde Omubejja Juliana Beatrice Muggale eyaserera ku lunaku olwo’kutaano.

Mu bubaka obusomedwa Nalinya, Dina Kigga ategezezza ngono bwabadde ekyokulabirako eri olulyo olulangiira nobwakabaka bwa Buganda ngabadde mukakamu era muzza nganda eri abantu ngabadde muwabuzi we.

Omugenzi agenda kuterekebwa mu masiro ge Kasubi ku saawa 10 olwe ggulo lwa leero.

Mu kusabira omwoyo gwomugenzi ku lutiiko, okukulemeddwamu dean we Namirembe Rev canon Kiryo Benon asabye abantu okulokoka era bakole ebirungi ebinabogerwako nga bazaaye.

Mu kusooka katikkiro wa Buganda Ow’ekitiibwa Charles peter Mayiga asiimye emirimu amakula egyakolebwa omumbejja Beatrice Muggale abadde Ssenga wa kabaka.

Katikiro agambye nti ono yagumira obujoozi bwabafuzi bamatwale, obujoozi bwabakulembeze abasibira mu bbwa mu kaseera nga ssekabaka Muteesa awanganguse, kyoka bino byonna nga biwedde naba musaale okuzaawo obwakabaka nokubuzza ku ntiko.

Katikiro mungeri yeemu asabye abakulembeze okukoma okwekuza, wabula babeere betowaze ng’omumbejja bwabadde

Okusaba kuno kwetabidwako ne maama wa Bganda, Nyaffe Sylivia Naginda.