Amawulire

Ssabasajja ayagalizza abantu be paasika ennungi

Ali Mivule

April 18th, 2014

No comments

Kabaka waves

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ayagalizza  bannayuganda amazuukira ga yezu kulistu amalungi mu bubaka bwe bw’awereeza.

Kabaka agamba nti singa yesu  teyazuukira kuva mu bafu kugenda mu ggulu tewandibaddewo ssuubi.

Mu bubaka bwe, kabaka ategezeza nti  eggwanga lirina okwebaza mukama katonda olw’obutebenkevu.

Ayongeddeko nti abakkiriza basaanidde okukuuma empisa ennungi zebooleseza mu kisiibo okugenda nazo mu maaso.