Amawulire

Teri bibuuzo birala eri abakoppa!

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ministry eyebyenjigiriza nemizannyo erabudde amasomero agalina ebibuuzo ebyakwatibwa, nti tebeyibaala teri bibuuzo biralala bigenda kubweebwa bayizi.

Bwabadde ayogerera mu kusunsulamu abagenda okutandika okusoma ssiniya eyokutaano, mu kibangirizi kyabanamakolero e Lugogo, minister omubeezi John Chrysostom Muyingo ategezeza nti abakulu bamasomero gano bazze basaba nti baddemu okuweebwa ebibuuzo kyagambye nti tekisobokera ddala.

Alabudde nti kino kibeera ekyokuyiga eri abayizi, abasomesa na bonna abakwatibwako okutandika okusa ekitiibwa mu bigezo bye gwanga naddala ebyakamalirizo.

Kinajjukirwa nti ekitongole kyebigezo mu gwanga ekya UNEB kyakwata ebibuuzo ebya ssiniya eyokuna ebyakolwa omwaka oguwedde 4,500 nga byekuusa ku kukoppa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *