Amawulire

Tumukunde talina musango

Ali Mivule

February 13th, 2013

No comments

Oludda oluwolereza Brig Henry Tukunde lwongeddwaamu amaanyi.

Munnamateeka ow’erinnya Macdusman Kabega olwaleero yegasse Oscar Kambona mu kufundikira omusnago guno.

Kabega agambye nti tewali nsonga lwaki Tumukunde avunaanibwa kubanga mu biseera ebyo buli kyeyayogera yakikola mu kitiibwa kye ng’omubaka wa palamenti

Kyokka era Kabega agamba nti oludda luwaabi lulemereddwa okukwataganya emisnago ku kifo Tumukunde weyyayogerera ebigambo ebigambibwa okukolokota gavumenti.

Asabye nti omuntu we ayimbulwe kubanga ayingiriziddwa nnyo nga kooti myaka munaana nga yetoloola na musango gumu.

Omusnago guddamu nga 28 omwezi guno okuwa oludda oluwaabi akadde okuddamu okusaba okukoleddwa oludda lwa Tumukunde