Amawulire

Abadde atunda ensenene bamusibye

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Omusajja  agambibwa  okusangibwa ng’atunda  ensenene  mu  kibuga gamumyuuse ng’atwalibwa mu komera e Luzira. Gumisiriza Ambrose asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende namuvunanwa omusango gw’okutunda ensenene nga tafunye lukusa kuva mu Kitongole kya KCCA n’agukkiriza. […]

Ensenene kati zakugatibwanga mu birungo by’enkoko

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’omutindo kitongozza akabonero akapya akagenda okukozesebwa ku kirungo  ekipya ekikozesebwa mu kutabula emmere y’enkoko  wamu n’eyebyenyanja. Ekirungo kino ekimanyiddwa nga INSFEED  kikolebwa okuva mu biwuka nga ensenene n’ebirala . Amyuka akulira ekitongole kino  Patricia Ejalu agamba  oluvanyuma lwokakasibwa, kati […]

Minisita Mutagamba aziikibwa leero

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa Eyabadde minisita w’ebyobulambuzi omugenzi Maria Mutagamba  olwalerro lwaziikibwa ku kyalo  Gamba mu disitulikiti ye Rakai. Olunaku lw’eggulo omubiri gw’omugenzi gwatwaliddwa mu palamenti okugukubako eriisa evvanyuma. Wano sipiika wa palamenti weyasabidde gavumenti okukola ku yinsuwa z’okujanjaba bannayuganda basobole okufuna obujanjabi obusaanidde. Omugenzi  Mutagamba […]

Abesimbyewo e Kyadondo balabuddwa

Ali Mivule

June 28th, 2017

No comments

Bya Ben Jumbe Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde bonna abesimbyewo ku kifo ky’omubaka we Kyadondo okwewala okukuba kampeyini endala oluvanyuma lwa kampeyini okukomekerezebwa olunaku lw’eggulo mu butongole. Olwokaano luno lulimu abantu 5 nga abamu baakubye nkungaana gagadde sso nga abalala baavudde nju ku nju. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  […]

Museveni yesozze akalulu ka Kyadondo

Ali Mivule

June 27th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Pulezidenti  Yoweri Kaguta Museveni  olwaleero naye asuubirwa e Kyadondo okukubira munna NRM William Sitenda Ssebalu kampeyini mu kulonda kuno okubindabinda nga ne kampeyini zikomekerezebwa olwaleero.   Munnamawulire wa pulezidenti Don Wanyama atutegezezza nti ssentebe w’ekibiina kino Museveni ayagala kuperereza balonzi balonde munnakibiina […]

Kampeyini ze Kyadondo zikoma leero

Ali Mivule

June 27th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza  nga bweketegekedde obulungi okuddamu okulonda kw’omubaka wa Kyadondo East. Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma lwa kkooti ejulirwamu okukkanya  ne kkooti enkulu nebagoba Apollo Kantinti mu palamenti nti yazimuula amateeka g’ebyokulonda. Abesimbyewo 6  kati mwezi mulamba nga banoonya akalulu era […]

Ekisaddaaka bantu kikomyewo

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Poliisi erabudde nga ekisaddaaka bantu  bwekisitudde buto mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Kino kiddiridde poliisi okugwa mu mitwe gy’abantu 2 wamu n’ekiwuduwudu mu maka g’omusamize ssetimba Muyanja omutuuze mu gombolola ye  Kamira mu disitulikiti ye Luweero ate nga waliwo n’omulambo omulala ogwasangiddwa mu […]

Dereva eyavuddeko akabenje k’eMasaka bamuwenja

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Poliisi mu bitundu bya Katonga ekyali ku muyiggo gwa dereeva eyavuddeko akabenje akafiiriddemu abantu 9 ku luguudo lwe Masaka olunaku lw’eggulo . Aduumira poliisi y’ebidduka mu ggwanga  Dr Steven Kasiima agamba dereeva ono Moses Ssentongo y’avugisizza ekimama nga agezaaako okuyisiza mu kitundu […]

Abaana b’amassomero bakuweebwa amata g’obwerere

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam ssebuliba Minisitule y’ebyobulunzi eri mu nteekateeka z’okugabira abaana b’amassomero amata mu kawefube w’okutumbula eby’obulamu byabwe. Mu Uganda kiteberezebwa okuba nti buli mwaka omuntu liita z’amata 20 sso nga ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kiwabula omuntu anywe liita 600. Minisita omubeezi ow’ebyobulunzi  joy Kabatsi […]

Bannayuganda bangi batulugunyizibwa mu kimugunyu

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okuvumirira okutulugunya  n’okuwagira abatulugunyiziddwa , amaloboozi g’okusomesa abakwasisa amateeka ne bannayuganda bonna ku by’okutulugunya gongedde okuyitamu.   Olunaku luno lukuzibwa buli nga  June 26 each okujjukiza ensi nti okutulugunya kikolwa kya kko.   Akulira […]