Amawulire

Ekisaddaaka bantu kikomyewo

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Poliisi erabudde nga ekisaddaaka bantu  bwekisitudde buto mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Kino kiddiridde poliisi okugwa mu mitwe gy’abantu 2 wamu n’ekiwuduwudu mu maka g’omusamize ssetimba Muyanja omutuuze mu gombolola ye  Kamira mu disitulikiti ye Luweero ate nga waliwo n’omulambo omulala ogwasangiddwa mu […]

Dereva eyavuddeko akabenje k’eMasaka bamuwenja

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Poliisi mu bitundu bya Katonga ekyali ku muyiggo gwa dereeva eyavuddeko akabenje akafiiriddemu abantu 9 ku luguudo lwe Masaka olunaku lw’eggulo . Aduumira poliisi y’ebidduka mu ggwanga  Dr Steven Kasiima agamba dereeva ono Moses Ssentongo y’avugisizza ekimama nga agezaaako okuyisiza mu kitundu […]

Abaana b’amassomero bakuweebwa amata g’obwerere

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam ssebuliba Minisitule y’ebyobulunzi eri mu nteekateeka z’okugabira abaana b’amassomero amata mu kawefube w’okutumbula eby’obulamu byabwe. Mu Uganda kiteberezebwa okuba nti buli mwaka omuntu liita z’amata 20 sso nga ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kiwabula omuntu anywe liita 600. Minisita omubeezi ow’ebyobulunzi  joy Kabatsi […]

Bannayuganda bangi batulugunyizibwa mu kimugunyu

Ali Mivule

June 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okuvumirira okutulugunya  n’okuwagira abatulugunyiziddwa , amaloboozi g’okusomesa abakwasisa amateeka ne bannayuganda bonna ku by’okutulugunya gongedde okuyitamu.   Olunaku luno lukuzibwa buli nga  June 26 each okujjukiza ensi nti okutulugunya kikolwa kya kko.   Akulira […]

omuliro gusanyizzawo sitoowa z’obuwunga

Ali Mivule

June 23rd, 2017

No comments

Bya Ali Mivule Abasuubuzi bomu kisenyi bali mu miranga oluvanyuma lw’omuliro okusanyaawo emmaali yaabwe. Abasinga bagenze okukeera ku makya nga omuliro gukyayaka nga era era ebyuma byabwe eby’obuwunga bisanyewo wamu n’ekizimbe kya Salabed ekitereka emigugu egyenjawulo.   Okusinziira ku basuubuzi omuliro guno gwatandise ku saawa […]

Bannamateeka ba gavumenti becanze

Ali Mivule

June 22nd, 2017

No comments

Bbo bannamateeka ba gavumenti bali  mu nteekateeka zakuteeka wansi bikola lwamusaala mutono gwebafuna. Ssentebe w’ekibiina ekigatta bano  Baxter Bakibinga agamba olwaleero bannamateeka bokka abakolera mu byalo bebatagenda kukola kubanga balina okujja mu lukungaana lwabwe olwenkya okusalawo ku kediimo kaabwe. Wabula bbonna abali mu kampala balina […]

Alipoota y’abaalya ez’amafuta efuluma leero

Ali Mivule

June 22nd, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune Akakiiko ka palamenti akaatekebwawo okunonyereza ku baagabana obuwumbi oluvanyuma lwa Uganda okuwangula omusango gw’amafuta mu Bungereza olowaleero lwekanja alipoota. Alipoota eno y’abadde yakusomebwa olunaku lw’eggUlo wabula obudde tebwamaze. Mu alipoota eno, akakiiko kaasazeewo abakungu ba gavumenti bonna abaalyako yadde ekikumi bazizze mangu […]

Olukungaana lw’ababundabunda lwaleero

Ali Mivule

June 22nd, 2017

No comments

  Ssabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Antonio Guterres olwaleero asuubirwa okutuukako mu nkambi y’ababundabunda eya Imvepi mu disitulikiti ya Arua. Ssabawandiisi ali kuno okukubiriza olusirika lw’ababundabunda olumanyiddwa nga Uganda Solidarity Summit on refugees nga era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni naye wakubeerawo nga lugulwawo. Guterres wakuwerekebwako […]

Amateeka amakakali ku vanilla gajja

Ali Mivule

June 20th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Nga obubbi bw’ekilime kya Vanilla bweyongera buli lukya, minisitule y’ebyobulimi eyisizza amateeka amakkakali ku by’okukungula n’okutunda ekirime kino. Mu lukiiko lw’abalimi ba Vanilla okuva mu bitundu 30 gyebasinga okumulima, kyasaliddwawo nti abalimi bonna bawandiisibwe nga era teri kuddamu kukungula vanilla muto. Nga […]

Ayiiridde munne olweje olw’okumunenya asindikidwa Luzira

Ali Mivule

June 20th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera Omukazi agambibbwa okuyiira muliranwa we  amazzi agokya oluvanyuma lw’okumugaana okusulasula obubi bw’omwana we buli w’asanze avunaniddwa nasindikibwa ku alimanda e Luzira. Nakalisa Mariam avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende omusango nagwegaana. Oludda  oluwaabi nga  […]