Amawulire

obuyumba bumenyeddwa

Ali Mivule

February 19th, 2013

No comments

  Abakulembeze ba Mityana town council bakoze ekikwekweto nebamenya obuyumba bwa kiosk bwonna obuli mu tawuni, ekirese abasuubuzi nga balaajana. Ekikwekweto abaserikale ba town council bakizoe mu matumbi budde ekiro nga abasuubuzi bagenze okutuuka ku mirimu nga obuyumba bwabwe ne maali byonna byalugenze dda. Obuyumba […]

Akafubo ku baasi

Ali Mivule

February 18th, 2013

No comments

Aba kkampuni ya pioneer easy bus beesozze akafubo n’abawooza aba Revenue authority. Kino kigendereddwaamu kulaba nti baasi zino zidda ku nguudo okusabaaza abantu. Omu ku bakulira kkampuni ya pioneer ,John Masanda agamba nti basuubira URA okubaddiramu baasi zino ziddemu okukola. Kati saabiiti nnamba nga baasi […]

Yesse lwa bbanja

Ali Mivule

February 18th, 2013

No comments

  Omukazi e Rakai yewadde obutwa naafa lwabanja. Rose Nantongo ow’emyaka ga a 38 abadde mutuuze we Byakabanga mu district ye Rakai akutuse  atuusibwa mu dwaliro ekkulu erye Rakai. Ono yeekamiridde obutwa lwabanja lya bukadde 4 ezibadde zimulemye okusasula. Okusinziira ku akulira ebyokunoonyereza ku police […]

Omusumba aluyiseeko

Ali Mivule

February 18th, 2013

No comments

Omusumba Zac Niringiye akkiriziddwa okugenda ku lugendo lwe. Kiddiridde okuleeta paasipoota ye ne tikiti eraga nti abadde alina okugenda mu ggwanga lya Italy ku lunaku lw’okusatu. Niringiye alabiseeko mu maaso g’amyuka akulira ba mbebga ba poliisi e Wandegeya Simon Asaba Ono avunaanibwa kukuma mu bantu […]

Kasasiro ayitiridde

Ali Mivule

February 18th, 2013

No comments

  Abakulira distrct ye Jinja baweze abatuuze okukozesa ebipipa bya kasasiro mu district eno. Kati ebimotoka bya kasasiro byaakuvanga nju ku nju nga bikungaanya kasasiro ono. Omwogezi wa town council eno Rajab Kito agamba nti basazeewo kino kubanga abantu abasinga basuula kasasiro mu bipipa bino […]

Okwekalakaasa kuzzeemu

Ali Mivule

February 18th, 2013

No comments

Abayizi bazzzeemu buto okwekalakaasa e makerere . Bano bawakanya eky’okubasasuza ebitundu 60 ku kikumi ekya fiizi mu ssabiiti esooka. Abayizi bano ku luno bakedde nga missa ne beyiiwa ku nguudo z’omu university kyokka nga poliisi ebatebuse mu bwangu era alinga buwuka. Poliisi amaze okuzingako ekifo […]

Emisinde

Ali Mivule

February 15th, 2013

No comments

Abaddusi abamannya nga Moses Kipsiro, Dorcus Inzikuru,Annet Negesa,n’abalala beebamu ku bagenda okwetaba mu mpaka z’eggwanga ezomwetoololo olunaku lw’enkya e jjinja. Ekibiina ekiddukanmya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga kigenda kweyambisa empaka zino okulonda tiimu y’eggwanga enetaba mu z’ensi yonna mu Poland. Empaka zino zigenda kwetabwaamu abantua basoba […]

Museveni awangudde

Ali Mivule

February 15th, 2013

No comments

President museveni awereddwa olukusa okukozesa akayimba ka mpenkoni ng’akake Abasomesa be makerere babiri okuli Mwambusya Ndebesa ne Dr. Deo Nzarwa baali bwakanya eky’okuwa president  akayimba kano nga bagamba nti kagatta olunyankole n’olukiga ekintu ekikyaamu. Wabula amyuka omuwandiisi weggwanidisizo ly’ebbintu ebitali bimu omuli enyimba ng’ono ye […]

Omwana awanuse ku muti

Ali Mivule

February 15th, 2013

No comments

Omwana omulenzi abadde alinnye okuwanula ova agudde mu kinnya kya kabuyonjo. Bosco Luswata owe Kasubi Lubya ame emenyese omugongo n’okugulu. Maama w’omwana ono Joyce Naluyima agamba nti namwandu era ng’abadde atembeeya bugoye okufuan eky’okulya. Omukyala ono talina buyambi bwonna era ng’awanjagidde abaddukirize okumuyamba. ALi ku […]

Sukaali ku mabwa

Ali Mivule

February 15th, 2013

No comments

Mu ggwanga lya Zimbabwe, waliwo omusawo atandise ounonyereza okuzuula oba sukaali awonya ebiwundu. Moses Murandu agamba nti yakula alaba kitaawe ng’assa sukaali ku mabwa. Ono agamba nti sukaali bw’omussa ku kiwundu akisikamu amazzi era ng’agoba obuwuka obwandiyingidde mu kiwundu.