Amawulire

Obulumbaganyi e`Nigeria

Obulumbaganyi e`Nigeria

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Abateberezebwa okubeera abakambwe ba boko Haram bazindukkirizza oluseregende lw’emmotoka z’amagye okubadde ne ssabadumizi w’amagye ga Nigeria. Mu kulwanagana omujaasi omu yeyatiddwa sso nga bannalukalala 5 nabo tebalutonze. Gen Tukur Buratai y’alondebwa ku kifo kya ssabadumizi w’amagye mu July oluvanyuma lwa gweyaddira mu bigere okukwatibwa ku […]

Bannayuganda abalwadde b’emitwe bandifuna ku buwerero

Bannayuganda abalwadde b’emitwe bandifuna ku buwerero

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Bannayuganda abalwadde b’emitwe bandifuna ku buwerero oluvanyuma lw’ebbago ly’etteeka ku balwadde b’emitwe okwanjibwa mu palamenti wiiki ewedde. Minisita omubeezi ow’obujanjabi obusokerwako Dr Chris Baryomunsi agamba nga limaze okufuuza etteeka, obujanjabi bw’abalwadde bn’emitwe bwakubeera bwangu kwetuusako.

Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya

Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya olw’endoliito mu kusubulagana sukaali wakati wa Uganda ne Kenya. Kino kijidde mu kiseera nga waliwo bannabyabufuzi abaagala okulinya eggere mu ndagaano eyatekebwako emikono omukulembze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta n’owa Uganda Yoweri Museveni okukkiriza sukaali wa Uganda […]

Abatabereza okutemako ssengawe omutwe nebamutta.

Abatabereza okutemako ssengawe omutwe nebamutta.

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Abatuuze mu disitulikiti ye Isingiro bakkakanye ku musajja gwebatabereza okutemako ssengawe omutwe n’okutta omwana wa mugandawe omulala nebamutta. Omusajja ono ategerekese nga Turyahabwa nga bamulumiriza okutta ssenga we Namatanza Susan ow’emyaka 55. Abatuuze bagamba nti Namatanze y’atiddwa agezaako kutaasa muzzukulu we ow’emyaka 13 ategerekese nga […]

E Kyambogo bandilowooza ku ky’okwongezaayo olusoma

E Kyambogo bandilowooza ku ky’okwongezaayo olusoma

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Nga abayizi mu matendekero ga gavumenti kyebaggye baddemu mu lusoma olupya, bbo abakulira ettendekero ly’e Kyambogo bandilowooza ku ky’okwongezaayo olusoma luno. Abayizi bakafiirwa ssabbiiti 2 nga tebasoma olw’abakozi abatali basomesa okwediima nga baagala okwongezebwa omusaala naye nga kati bazze mulimu. Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Prof […]

Muruli Mukasa awadde abakadde amagezi

Muruli Mukasa awadde abakadde amagezi

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Minisita w’ekikula ky’abantu Muruli Mukasa awadde abakadde amagezi obutatunda kalulu kaabwe eri bannabyabufuzi bannakigwanyizi. Mukasa agamba nga okulonda kwa 2016 kukubye kkoodi, bannabyabufuzi bangi batandise okugulirira abantu nga abakadde abakyala n’abavubuka okubawagira. Wabula awadde abakadde amagezi bawagire abo bebalabamu omulamwa.

Besigye mukwatte, Kisekka agaddwa

Bernard Kateregga

June 20th, 2013

No comments

Eyali akulira ekibiina kya FDC, Dr. Kiiza Besigye, akwatiddwa poliisi. Bamusanze mu kikuubo nga kigambibwa nti abadde asalinkiriza agenda mu katale k’ewa Kisekka, ayogerere mu basuubuzi. Akulira poliisi mu Kampala James Ruhweza agamba nti Besigye atwaliddwa ku kitebe kya poliisi mu Kampala gy’akuumirwa kati. Ko […]

Ssalongo Lukwago azirise

Bernard Kateregga

June 20th, 2013

No comments

Loodi Mayor Salongo Erias Lukwago azirise amangu dala nga yaakalabikako maaso ga kakiiko ka KCCA akabadde kalina okutandika okumusoya ebibuuzo ku kwemulugunya kwaba kansala 17 abeemulugunya, nga baagala okumujamu obwesige. Abaserikale baabukeerezza nkokola kwebungulula makaage e Wakaliga mu divisoni y’e Rubaga ne bamuziyiza okuvaayo nga […]

Omusajja omulala yesse e Mulago

Bernard Kateregga

June 20th, 2013

No comments

Omusajja omulala yeekasuse okuva ku mwaaliriro ogwokuna ku dwaliro e Mulago neyekata wansi nafiirawo. Omugenzi ategeerekese nga nga  Kenneth Muhumuza nga abadde atawanyizibwa ekirwadde kyomutima yeenyiye naabuka okuva ku  mwaliriro ogwokuna paka ku taka. Muganda womugenzi ategeerekese nga  Baguma Muhumuza  agamba omugenzi ono yasoose kwegezamu […]