Amawulire

Abatuuze batabukidde poliisi ku kabuyonjo

Abatuuze batabukidde poliisi ku kabuyonjo

Ali Mivule

September 22nd, 2016

No comments

Abatuuze ku gombolola ye   Buyanga  mu disitulikiti ye Busia batiisizza okwekalakaasa olw’abaserikale ba poliisi abatalna kabuyonjo nga babakalubiriza n’okukozesa ezaabwe. Abatuuze balumiriza nti poliisi ye Buyanga tewali kabuyonjo olwo abaserikale bagenda mu zaabwe n’ekisinga okubanyiiza nti ekikwekweto ky’okukwata abatalina zi kabuyonjo mu kitundu bwekituuka, abaserikale […]

Ab’emikutu gy’amawulire balabuddwa ku byebawereza

Ab’emikutu gy’amawulire balabuddwa ku byebawereza

Ali Mivule

September 22nd, 2016

No comments

Gavumenti  etegezezza nga bw’egenda okukangavvula emikutu gy’amawulire gyonna okuli TV ne Radio  egitafaayo kuteeka biwerezebwa kumpewo ebiweza ebitundu 70%  nga bivudde mu Uganda. Kuno okusalawo kukoleddwa akakiiko akalondoola ebigenda kumpewo mu lukungana olwabuli mwaka, nga eno akulira akakiiko kano Godfrey Mutabazi   gyasinzidde nategeeza nga kino […]

Omusajja omulala yekasuse  okuva ku kizimbe

Omusajja omulala yekasuse okuva ku kizimbe

Ali Mivule

September 22nd, 2016

No comments

Omusajja omulala  yekanyuze okuva kukzimbe kya Garden city neyekata ennume yekigwo- wabula natafa nga bwabadde eyagala. Tutegeezeddwa nti omusajja   avudde waggulu neyekatta  ku motoka namba UAS 797K , nga eno ebadde esimbidwa mukifo kino Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emirirraa Emiliano Kayima agambaye nti ono […]

Abasomesa badduse mu bibiina lwamabanja

Abasomesa badduse mu bibiina lwamabanja

Ali Mivule

September 20th, 2016

No comments

Abamu ku basomesa  mu disitulikiti ye Butaleja tebakyayagala kulinya mu bibiina nga batya okukwatibwa olw’amabanja ga banka agabali mu bulago. Akulira ebyenjigiriza ku disitulikiti Phillip Kalyebbi agamba banji ku basomesa bano balina amabanja wakati w’ana n’omukaaga.   Wabula Kalyebi enenya abasomesa bano kubanga mukifo ky’okwewola […]

Sipiika era bamutabukidde ku by’amawulire

Sipiika era bamutabukidde ku by’amawulire

Ali Mivule

September 20th, 2016

No comments

Abalwanirira eddembe lyabannamawulire basoomozeza ekya sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga okukubisa bannamawulire ebirayiro nga tebanatandika kukwata mawulire mu palamenti.   Sipiika agamba bannamawulire ba palamenti bawandiika kalebule ku palamenti kale nga betaaga okukomebwako.   Kati omukwanaganya w’ekibiina kya Human Rights netwrk for journalists Robert Ssempala […]

Museveni bamukolokose ku by’okugaba ssente mubutale

Museveni bamukolokose ku by’okugaba ssente mubutale

Ali Mivule

September 20th, 2016

No comments

Ab’ekibiina kya FDC bakolokose pulezidenti Museveni olwokumala gagabanga ssente eri ebibiina by’obwegassi mu butale. Kino kiddiridde ebyafulumye nti pulezidenti aliko ekibiina ekitaliiyo kyeyawa obukadde 100 wali e Mulago kubbiri sso nga ssinakiwandiise. Kati omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agamba pulezidenti alina kulungamya nkola […]

Paasita bamukutte n’abawala

Paasita bamukutte n’abawala

Ali Mivule

September 19th, 2016

No comments

Poliisi ye Jinja eriko paasita gw’ekutte lwakusangibwa n’abawala b’abadde akuumira mu kanisa gyeyakola mu makage. Paasita  Osubati Obako okuva e Kabaale y’akwatiddwa ku kyalo Naigobya .   Poliisi egamba abamu ku batuuze bafunye okweralikirira nti yandiba nga asobya ku bamu ku bawala bano nga era […]

Omukazi yesaze obulago

Ali Mivule

September 19th, 2016

No comments

E Jinja waliwo omukazi atanaba kutegerekeka eyesaze obulago n’afiirawo. Enjego eno ebadde mu tawuni ye Jinja ku luguudo lwa Eng Dhikusooka. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Samson Lubega agamba omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Jinja okwongera okwekebejebwa. Lubega agamba poliisi ekyagenda mu […]

Enzizi omuli Kazambi bazigadde

Ali Mivule

September 19th, 2016

No comments

Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye Kable wamu n’abakungu okuva mu kitongole ky’amazzi ne kazambi babakanye ne kawefube w’okuggala  enzizi ezasangiddwa nti amazzi gaazo mulimu empitambi. Bano nga gakulembeddwamu akulira ekitongole ky’amazzi e Kable Lenny Otai n’akulira ebyobulamu ku disitulikiti Andrew Beija bagkuggala enzizi ezili eyo mu […]

Nadduli ayagala kwetuukira wa pulezidenti

Ali Mivule

September 19th, 2016

No comments

Minisita atalina mulimu gwankalakalira Al-Hajji Abdul Nadduli ategezezza nga bw’ayagala okutuukirira omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni awatali kuyita mu muntu yenna.   Nadduli agamba abmu ku bantu pulezidenti beyesiga okumutuusako obubaka tebabutuusa olw’ebigendererwa byabwe eby’okweyagaliza bokka kale nga kati naye ayagala yetuukire awatali kusindika mabaluwa […]