Amawulire

Obutale bw’ente buwereddwa.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba. Police wano e Karamoja ategeezeza nga bweweze  obutale bwente mu bitundu bino, nga kino kigenderedwamu kulwayisa abanyaga ebisolo  mu bitundu bino. Twogedeko n’omubaka wa president mu kitundu kino Samuel Mpimbaza Ashaka  mu Abim District n’agamba nti  abalunzi abava mu Kenya baludde nga […]

Apollo kantinti bank emutwala-abangibwa obukadde 260.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah. Eyaliko omubaka we Kyadondo East, Apollo Kantinti  ayitiddwaa mu kooti mu bwangu dala, nga ono ekimutawunkanya kulemwa kusasula banja lya bukadde 260  zeyeewola okuva mu  Standard Chartered Bank mu mwezi gwa  June-2016. Ebiwandiiko ebiteekedwako omukono gwamyuka ssabawandiisi wa kooti Olive Kazaarwe ,biraga […]

Edwaliro lye Lyantonde terikyalina dagala-abalwadde bakaaba.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya Getrude Mutyaba. E Lyantonde  tutegeezeddwa nga abalwadde bweboolekedde okufa olw’eddagala eriruddewo okutuusibwa mu ddwaliro lino erya gavumenti. Akulira eby’obulamu mu district ye Lyantonde Dr Okoth Obbo agamba nti beeraliikirivu ku bulamu bw’abalwadde olwa gavumenti okulemererwa okubaweereza eddagala. Dr Obbo agamba nti abalwadde bafuna bangi […]

Ababaka ba NRM beevumye akafubo-ensonga za Refalendamu.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya kyeyune Moses. Ababaka ba parliament banna –NRM wetwogerera nga beevumbye akafubo wano ku office ya ssabaminister , nga bano ekibatuteyo kubaako nsonga ezigasa ekibiina zebakaanyako. Twogedeko n’omubaka we kasanda Suth Simeo Nsubuga n’agamba nti ezimu ku nsonga zebagenda okuteesako kekalulu ka  referendum akakyali mu […]

Abaana abatikiddwa basabiddwa okwetonderawo emirimo.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

By Damali Mukhaye. Wetwogerera nga okukira abayizi abe Makerere abasoba mu 14,000 kugenda mu maaso, nga gano g’ematikira agakyasinze okubaako abaana abangi mu byafayo bya Makerere. Mukwogera amyuka akulira etendekero lino Prof. Barnabas Nawangwe asabye abayizi bonna abagenda okutikirwa nti bagwana beewale okusoma omuwawa ate […]

Omukazi asibiddwa lwakulagajjalira mwana.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah. Mu kooti: Omufumbo  ow’emyaka  makumi  22  asimbiddwa  mu  mbuga  z’amateeka navunanwa  omusango  gw’okulagajalira  omwana  we  owa sabiiti ebiri zoka. Nantambi Christine avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi  we daala erisooka Patrick Talisuna omusango nagwegaana. Oluvanyuma lw’okwegaana omusango  omulamuzi amusindise […]

Makerere etandika leero okutikira abaana abasoba mu 14,000.

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye. Olunaku olwaleero etendekero elya Makerere lweritandika okutikira abaana abasoba mu mitwalo 14,000 , nga gano gematikira ag’omulundi- 68th Okutikira kuno  kugenda kumaala enaku 4, era kutandiise leero kuggwe ku lw’okutaano. Amyuka akulira etendekro lino Prof Barnabus Nawangwe , agamba nti bano bebaana […]

Munnamwulire Muyanga Lutaaya abanjibwa obukadde 290

Ivan Ssenabulya

January 15th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba Kooti enkulu e Jinja munamawulire, eyavuganya ku kiffo kyomubaka wa palamenti owe ssaza lye Bulamogi, Simon Muyanga Lutaaya okweyanjula ku Lwokusattu lwa wiiki eno nga 17th oluvanyuma lwokulemererwa okusasula ensimbi obukadde 290 eri eyamuwangula omusango Keneth Lubogo. Ebiwandiiko ebiyitra Muyanga Lutaaya, biyisiddwa […]

Emmundu 48 zezinunuddwa

Ivan Ssenabulya

January 15th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa Alipoota ya poliisi ekyasembeyo ku nkozesa ye mundu eeraze nti, emmundu 48 namasasio 524 byebyanunulwa mu mwaka gwa 2017 gwokka ekitongole kya police flying squad. Bwabadde ayogera ne banamwulire batuzizza ku CPS mu Kampala, omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian Kayima ategezeza […]

Gen Mugisha Muntu agenze kwebuza ku bantu-banna FDC bamwanukudde.

Ivan Ssenabulya

January 15th, 2018

No comments

  Olunaku olw’aleero eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Gen Mugisha Muntu bwatandise  kaweefube gweyalangira nga agamba nti ono wakwebuza kubannayunga  ku kyagenda okuzaako. Kinajukirwa waaliwo akatuubagiro nga omukulu ono yakawangulwa kubwa president bw’ekibiina kya FDC, ekyaletera n’abantu okulowooza nti yandiduka mu kibiina, kyoka nabategeeza nti […]