Amawulire

Akakiiko ka Bamugereirwe bakongedde omwaka gumu ne’kitundu

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni akakiiko akanonyereza ku mivuyo gye ttaka mu gwanga akongedde emyezi 18, gwe mwaka gumu nekitundu omulala, nga kakola. Ssentebbe wakakiiko omulamuzi Catherine Bamugemereire era ategezeza nti omukulembeze we gwanga Dr. Douglas Singiza ngomuwandiisi wakaiiko omugya okudda […]

Omugga gwabise mu Kenya abawerako nebafa

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Abantu abawerako abatanamanyika muwendo bandiba nga bebafiridde mu njega, omugga bwegwabise amazzi negabooga okwanjaala mu gwanga lya Kenya. Abobuyinza bagamba nti abantu 10 bandiba nga bebafudde. Okusinziira ku Daily Nation bino bibadde mu bitundu bye Solai ku mugga Patel ogwesudde mil120 okuva […]

Nzeyimana ogwa Jim Muhwezi aguvuddemu

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Omumyuka womuwandiisi wa kooti enkulu Deo Nzeyimana, avudde mu musango gwa eyali minister webyamwulire Rt. Maj. General Jim Muhwezi mwayaglira, bayimirize ebyokumugoba ku ttaka erisangibwa e Kyamula-Salaama mu division ye Makindye. Nzeyimana ategezeza nti kyanditunulirwa nga kyekubiira kubanga, bamanyiganye bulungi ne William Hitmana, […]

Gavumenti yakuleeta etteeka ku baana mu masomero

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2018

No comments

Bya Moses Ndaye Gavumenti yakutongoza enkola oba etteeka erikwata ku byobulamu nensomesa yabaana, kyebatuumye school health policy. Lino lyakulambulula ku ndiisa yabaana ku masomero, okubagemanga nokubananjaba ate nebikwata ku baana abawala abali mu nnaku zaabwe. Okusinziira ku Rosette Nanyanzi, omunonyereza mu ministry yebyenjigiriza nemizannyo, etteeka […]

Eyaganza muko’musajja bamukubye mizibu

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa Abadde yaganza muko musajja akubidwa mizibu. Herbert Ahereza owemyaka 42 kati anyiga biwundu mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lwemiggo egymukubiddwa bwebamugwikirizza ne mukk’omusajja . Bino bibadde Kawempe mu Kampala, ngataegezezza nga bwamazze sabiiti 2 bagalana nomukazi gwamanyiko erya Aisha kyokanga ono […]

Omubaka Tumwesigye ate ayagala kuvuganya ku kiffo kiralala

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2018

No comments

Bya Ssebuliba Sam Omukubiriza wa palamenti asabayeyo akadde okwekenneya, ensonga zomubaka we ssaza lya Sheema North Dr Elioda Tumwesigye obanga anasigala ngawereza mu palament waddenga yalaze obwagazi mu kwesimbawo ate ku kiffo kyomubaka wa munispaali eye Sheema, eyakatondebwawo. Ku Bbalaza ku ntandikwa ya wiiki eno […]

ow’emyaka 40 asobezza ku muwala we

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda Omusajja owemyaka 40 akwatiddwa poliisi mu district ye Bugiri nga kigambibwa nti yasobezza ku kaana akemyaka 7 gyokka. Omukwate mutuuze ku kyalo Bugodo mu gombolola ye Kapiang e Bugiri nga poliisi emusanze mu kinywero, nemutekako obunyogoga. Kigambibwa nti omwana oo abadde yajja ne […]

waliwo abamenye amayumba ge’ssaza e Buwekula

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2018

No comments

Bya Magembe Sabiiti Ekibinja kya bantu abeyita Abasazima bamenye enyumba z’obwakabaka bwa Buganda ezazimbibwa ku lubiri lwa Nakayima e Buwekula mu district ye Mubende. Avunanyizibwa ku by’obuwanga n’ennono ku lukiiko lwe essaza lye Buwekula Nanyonga Abbey, ategezezza nti mu nyumba zebamenye kwekuli enyumba ya Bachewzi, Ekigango ne […]

Ministry yekugema cholera

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa Ministry yebyobulamu yakugema okwomukamwa ekirwadde kya Cholera okwetoola egwanga. Bino webijidde nga Cholera yagobye era nakakasibwa mu Kampala nemu bitundu bye gwanga ebiralala. Minister Opendi ategezeza nti entakateeka eno egenda kutandika mu wiiki bbiri mu maaso. Wabula ategezeza nti okugema tekugenda kuyimiriza […]

Uganda etandise okwetangira Ebola

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa Oluvanyuma lwekirwadde kya Ebola okukaksibwa ku muliraano mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo, ministry yebyobulamu kuno egamba etandise okubaga ku ntekteeka yokwetangiramu ekirwadde kino. Bwabadde ayogerako naffe minister omubeezo owebyobulamu Sarah Opedi, agambye nti abataddewo akakiiko akenjawulo, okulondoola ensonga. Kati minister […]