Amawulire

Omuyizi asitudde munne na’mugunda wansi namutta

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa Omuyizi wa Busoga College Mwiri asoma S3 asitudde muyizi munne nga bali ku ssomero n’amukuba wansi n’amutta. Christopher Muwanguzi, owa S 4 yasitudde Kevin Macho n’amuggunda wansi nga baakamala okutendekebwa omuzannyo gwa ‘Rugby ekimuviriddeko omusaayi okuyiika mubwongo nafa. Kigambibwa nti Macho, olwagudde […]

Abaazirwanako bakaabira taka lyabwe.

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2018

No comments

Abakadde abaazirwanako beeyiye mu kakiiko akanonyereza  ku by’etaka nga bagaala kabayambibwe kubantu abaababbako etaka lyabwe. Mu bakadde bano mubaddemu ne Mzee Kawuki George ng’ategezezza nti atemera mugy’obukulu 114, Wasswa Kisitu myaka 107 n’abalala abadde mu myaka kyenda. Bano nga begatidde mu kibiina kyabwe ekya Uganda […]

Ezike eribadde lisinga obukadde li Zakayo lifudde.

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.   Amawulire agenaku getwakafuna galaga nga ezike eribade likira obukadde mu bugwanjuba, obuvanjuba ko n’amasekati ga Africa erimanyiddwa nga Zakayo bwerifudde olw’eggulo lwa leero. Omukulu Zakayo ono abadde mutaka wano e Ntebe era nga waafiridde nga emyaka akoonye 54 Twogedeko n’akullira ekifo […]

Abasomesa babatutte mu kooti

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2018

No comments

Bya Magembe Sabiiti Abasomesa 13 abakwatiddwa olw’okusomesa abayizi nga tebalina bisanyizo mu district ye Mubende basimbiddwamu kooti nebasomerwa omusango gw’okutandikawo amasamero bukyamu. Abasomesa bano bakwatiddwa oluvanyuma lwamasomero gaabwe okugalwawo nga tegalina bisanyizo kyoka nebaddamu okusomesa nga tebakiriziddwa. Omulamuzi wa kooti e Mubende Komaketch William yasomedde […]

Abatalina ndaga muntu ebya loogi mubyesonyiwe

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda Abobuyinza nebananyini zzi lodge mu Kabuga ke Buwenge mu district ye Jinja basazeewo nti tebajja kukiriza muntu yenna, mu kisulo nga talina ndaga muntu. Mu lukiiko lwabananyini ludge olwatudde, omuddumizi wa poliisi mu Kiira North Henry Mugarura , kino kigendereddwamu okulwanyisa abamenyi bamateeka, […]

Omulambo gwo’mwana guzuliddwa

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo Entiisa ebutikidde abatuuze Ku kyalo Ggolo mu gombolola ye Nkozi e Mpigi bwebasanze omulambo gw’omwana ow’emyezi 3 nga yatugiddwa nagusulibwa ku mabbali g’ekkubo. Ono asangiddwa abamu ku batuuze ababadde bagenda ku mirimu gyabwe bebalabye omulambo guno, ngemabbali wasangiddwawo enkata, lumonde omwokye, nakasuuka […]

Entekateeka zo’kukuza olunnaku lwa’bakozi

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2018

No comments

Bya Gertrude Mutyaba Enteekateeka z’okukuza olunaku lw’abakozi mu gwanga olugenda okuberawo sabiiti ejja ku Lwokubiri mu district ye Sembabule ziwedde. Okusinziira ku bakulembeze, omugenyi omukulu asubirwa okubeera omukulembeze w’egwanga Yoweri Kaguta Museveni. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Lameck Kigozi akakasizza abantu ng’ebyokwerinda bwebiri gulugulu.

Entekateeka z’okulamaga e Namugongo zitandise.

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.   Nga ebula omwezi gumu gwokka okutuuka ku lunaku olw’amalamaga agaabuli mwaka , nate entakekateeka zitandise ez’okulaba nga oluno luno lubeera makula. Bwabadde ayogerako ne banamawulire, omusumba wa Tororo Dioceses Emmanuel Obbo  nga bano bebatesiteesi agambye nti beetaga  obukadde 320  okutekateeka omukolo […]

Pulezidenti agamba nti radio eziweereza ebitazimba gwanga ziggalwe.

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba. Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni akaladde naategeeza nga bwagenda okuggala radio zonna ezimala obudde mu nsonga ezitazimba  gwanga mukifo ky’okulwanyisa obwavu nga bayigiriza abantu eby’okulima. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire nga asinziira mu maka g’obwa president e Lira president agambye nti okulwanyisa […]

Eyabbye Vanilla owa’kakadde bamututteko ettaka lye

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2018

No comments

Bya Malikh Fahad Omusomesa wa secondary akwatiddwa olwokubba vanilla. Omukwate musomesa ku ssomero lya Kitengesa comprehensive secondary school nga kigambiwa nti yabbye vanilla okuva mu nnimiro yomutuuze. Bino bibadde ku kyalo Butale mu district ye Masaka, ngabatuuze babadde bamuguddeko nebamukuba poliisi yetasizza. Bano oluvanyuma bakanyizza, […]