Amawulire

Banakyeewa balumbye Police ya Old Kampala.

Ivan Ssenabulya

February 12th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.   Kampala: Abakozi  mu kitongole   ekya Human Rights awareness and promotion forum  abaalumbibwa abatamanya ngamba sabiiti ewedde, nabo bakedde kulumba police eya old kampala nga baagala kumanya ani abalumba entakera kyoka natakwatibwa Kinajjukirwa nti ku lw’okutaano luno waliwo abaalumba office z’abano ezisangibwa […]

Okutimba enkalala z’abalonzi kutandise mu Jinja East

Ivan Ssenabulya

February 12th, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe. Wano e Jinja agavaayo galaga nga akakiiko k’ebyokulonda leero bwekatandise okutimba enkalala z’abalonzi mu Jinja East nga eno wewagenda okubeera  okulonda okw’omubaka wa Parliament okw’okudibwamu,songa  okusunsulamu abagenda okuvuganya kwakutandika nkya. ate okulonda kubeewo nga 15th march Abakulira akakiiko k’ebyokulonda mu kitundu kino […]

Gavumenti enenyezebwa

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Omukubiriiza wo’lukiiko lwa District ye Mukono Emmanuel Mbonnye ayambalidde gavumenti yakuno kumbeera yo’kugalawo amasomero go’bwanannyini ate nga gakoze kinene okusitula ekifanannyi kye’byenjigiriiza mu gwanga. Mbonnye agamba nti omuze gwo’kugalawo amasomero gano guzingamya ebyenjigiriiza. Ono awubudde ku kya gavumenti okuja omukono mu masomero […]

Abe Mukono bawanjagidde gavumenti

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Akulira ebyenjigiriza mu District ye Mukono Vicent Baraza ayozayozezza abayizi namasomero gonna agakoze obulungi mu bigezo bya ssiniya eyokuna ebyakalamalirizo ebyakolwa omwaka oguwedde. Baraza agamba nti newankubadde nga Mukono yasinze naye abasomesa balina okubeera abanyikivu era nawanjagira ne minisitule yebyenjigiriza okuzimbiira abasomesa […]

Abdallah Kitatta bamusindise mu kooti y’amagye

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Ssentebbe wekibiina kya NRM mu gombolola ye Rubaga Abdallah Kitata avunanaiddwa era nasindikibwa mu kooti yamagye gyanawozesabwa. Akakaiiko kamagye akakwasisa empisa akatuddw e Mbuya, kasindise Abudallah Kitata era ssentebbe wa Boda-boda 2010 ne banne abalala 12 mu kooti yamagye. Bano bavunanibwa emisango […]

Abayizi ababadde bakima ebyavudde mu bibuuzo bafiridde mu kabenje

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye Abayizi 3 abe ssomero lya Ndejje Secondary School bafiridde mu kabenje kulwe Bombo, bwebabadde bolekera okujjayo empapula zaabwe ezebibuuzo ku ssomero. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savanna Paul Kangave atukakasizza nti abayizi bano 4 babadde mu kujaganya, mu mmotoka nga bevuga, […]

Empigi baakubaga eteeka ku bulungi bwansi.

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya Mbogo Sadat. District ye Mpigi etegeezeza nga bwegenda okuyisa eteeka erikaka abantu okukola bulungibwansi emirundi ebiri buli mwezi ku buli kyalo. Kino ekyama  kibikuddwa ssentebe wa district y’e Mpigi, Peter Clever Mutuluza ku mukolo ogw’okukwasa ekikopo n’ebirabo ebirala eri ekyalo ekyasinze ebyalo ebirala mu […]

Somalia okwegatta ku mukago kwa East Africa ku kyali mu lusuubo.

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.   Ababaka ba parliament eya East African abava mu uganda bakubaganye empawa ku ky’okukiriza egwanga lya Somalia okwegatta ku mukago guno. Kinajukirwa nti abakulembeze b’amawanga gano bwebanaaba bali mu tabamiruka agenda okutuula wano  28th basubirwa okutesa ku nsonga eno oba enaasoboka. Kati […]

Abatemu balumbye office z’ekibiina ky’obwanakyeewa.

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Tukitegedeko nga Offices z’ekibiina ekya Human Rights Awareness and Promotion Forum wano e Namirembe  bwezirumbiddwa abantu abatanamanyika  nebatuusa obuvune kubakuumi, wabula mpaawo kyebabye. Okusinziira ku amyuka akulira ekitongole kino Anthony Mutimba  abakuumi 2 ababadewo balumziddwa era nga kaakano banyiga biwundu wali e  Nsambya. […]

Abdul Kitata akomezedwawo mu kooti y’amagye.

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah. Kooti y’amagye   etuula Embuya leero etudde okuwulira emisango egivunanibwa ayali akulira ekiwayi ekya Bodaboda 2010 Abdallah Kitatta nabalala 12  , nga bano bavunibwa emisango okuli egy’obutemu, ko n’okusangibwa n’ebyambalo by’amajje  . Amakya ga leero munamateeka wa kitata Joseph Kiryowa ko n’aboluganda lwa […]