Amawulire

Ababaka 3 abaali bagobwa bakudda mu palamenti

Ivan Ssenabulya

January 9th, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses Omumyuka womukyubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Jacob Oulanyah ajjeewo ekkoligo eryali lyatekebwa ku babaka abamu aboludda oluvuganya gavumenti. Ababaka 3 okuli owa minispaali eye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, owa munispaali eye Ntungamo Gerald Karuhanga nowa Kilak North Anthony Akol bebataguluddwa. Wabula 3 […]

Gavumenti erabuddwa ku kwewola

Ivan Ssenabulya

January 9th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Ebibiina byobwa nakyewa mu mukago Civil Society Budget Advocacy Group byambalidde gavumenti, ku kwewolanga ensimbi okutaggwa. Bwebabadde banukula kukiwandiiko ekikwata ku mbalirira ye gwanga eyomwaka gwebyensimbi 2018/19, Richard Ssempala okuva mu Uganda Debt Network ebbanja lye gwanga lyafuuka omugugu, ngensimbi nnyingi ku […]

Eyali Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda azikiddwa

Ivan Ssenabulya

January 9th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Eyali Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyotyo agalamiziddwa, mu nnyumba ye eyoluberera ku kiggwa kyabajuliizi ekyabakusitaayo e Namugongo. Banadiini abakulembeddwamu Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, Stanley Ntagali bakulembeddemu okusaba.

Ssabasumba Cyprian kizito Lwanga atabukidde gavumenti .

Ivan Ssenabulya

January 9th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba ne Ben Jumbe.     Ssabasumba wesaza ekulu elya kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga azeemu nakikaatiriza nga  bwewatali munadiini yenna alina kakuku ku government  bwekitandise okulagibwa. Ssabasumba era nga y’akulira ekibiina ekya Inter-religious council  agambye nti waliwo abagufudde omuze okukola obwambega ku […]

Abavuganya mu saza lye Ruhama balabuddwa ku ky’okusiga obukyayi.

Ivan Ssenabulya

January 9th, 2018

No comments

Bya ben Jumbe. E Ruhama  mu Distrct ye Ntungamo ewagenda okubeera okulonda okw’okudibwamu , agavaayo galaga nga akakiiko ek’ebyokulonda bwekalabudde abesimbyeewo mu kulonda kuno okwokubaawo ku lw’okuna nti bagwana bagondere amateeka, ko n’okwewala okukozesa ebigambo ebisiga obukyayi. Bano okuvaayo kigidde mukadde nga kakuyege weeno atuuse […]

Okusabira omubiri gwa ssabalabirizi Nkoyoyo kugenda mu maaso.

Ivan Ssenabulya

January 9th, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba. Wetwogerera nga okusabira omugenzi Dr Livingstine Mpalanyi Nkoyoyo kugenda mu maaso  wali kukiggwa ky’abajulizi e Namugongo. Okusaba kuno kwetabidwako abantu ab’enjawulo okutandikira ku ssabalabirizi we kanisa ya uganda Stanly Ntagali, omulabnirzi eyawumula  Henry Luke Orombi, katikiro wa Buganda Charlse peter mayega,  ssabaminister […]

Abe Masaka baakoledde Ssekandi akabaga

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2018

No comments

Bya Gertrued Mutyaba Abatuuze mu Bukoto Central bakoledde omumyuka womukulembeze w’egwanga Edward Kiwanuka Ssekandi akabaga akamuyozayoza okukwata ku ssemateeka. Bano basinzidde Kyanamukaaka nga bakulembeddwamu sipiika w’egombolola Mudashir Bbaale nebagamba nti abakristu kyonna kyebaakola okungoola Ssekandi mu kkanisa kyali kikyamu. Abatuuze beeyamye okuddamu okumunonyeza akalulu mu […]

Namungi womuntu yetabye mu kusabira omugenzi Nkoyoyo

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Olwaleero nasisisi womuntu yeyiye ku lutikko e Mukono mu kusabira omwoyo gwomugenzi, eyali Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Dr. Livingstone Mpalanyi. Omugenzi Nkoyoyo asimiddwa nokumwogerako amakula olwemirimu gyokusumba ekkanisa,. Okusaba kubadde ku St. Philips and Andrews Cathedral e Mukono. Ssabalabirizi we kanisa […]

Waliwo ebbula ly’musaayi

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses Ekitongole kye tterekero lyomusaayi ekya Uganda Blood Transfusion Services kigamba nti waliwo obwetaavu bwomusaayi unit eitwalo 6 ku unit emitwalo 30 mu malwaliro amanene gebalubirira mokwetoola egwanga. Ssenkulu wekitongole kinio Dr. Dorothy Kyeyune agamba nti kino kyeralikiriza, kubanga abantu tebafuddeeyo okuba omusaayi […]

Omumyuka wakulira ebyenjigiriza e Makerere avunaniddwa

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye Omumyuka wakulira ebyenjigiriza ku ttendekero e Makerere avunaniddwa mu kooti ewuliriza egyabali benguzi, emisango 4 egyekuusa ku buli bwenguzi nokukozesa obubi wofiisi ye. Etuusa Lubega Loy Margaret kigambibwa nti aliko byeyadibaga mu mattikira ge ttendekero agomulundi ogwe 67th. Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Muhumuza […]