Ebyemizannyo

Emisinde gy’omutolontoko gizze

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Empaka z’omutolontoko ezituumiddwa Ibanda Marathon zitongozeddwa omugagga Patrick Bitatule Emisinde gino gyakubeera Ibanda nga 28 omwezi guno era nga gyakwetabwaamu kkampuni ezitali zimu Ensimbi ezinaava mu misinde gino zakugenda eri okulwanyisa abamenyi b’amateeka

Omulamuzi ebya FUFA abijjeemu enta

Ali Mivule

February 16th, 2015

No comments

Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe avudde mu musango ogwawaabwa aba Uganda superleague  nga bawakanya ekya FUFA okusazaamu kontulakita yaabwe Omulamuzi agambye nti alina kyekubiira mu nsonga zino nga tasobola kugusala Mu ngeri yeemu era omulamuzi Mugambe ayongezezzaayo ekiragiro kyeyayisa ekiyimiriza FUFA okusazaamu kontulakita ya […]

Equatorial Guinea yakuliwa

Ali Mivule

February 6th, 2015

No comments

Eggwanga lya Equatorial Guinea likubiddwa kayini ya mitwalo 10 egya doola olw’okulemererwa okufuga abantu baalyo mu mupiira gweryazannye ne Ghana olunaku lwajjo Ab’ekibiina kya CAF bagamba nti omupiira guno nebweguba gwakuddibwaamu, abawagizi tebajja kukkirizibwa kubaawo. Equatorial Guinea era eragiddwa okusasula obujjanjabi bw’abawagizi 36 abalumiziddwa mu […]

Ab’obugaali gabesibye

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

Abakulembera omuzannyo gwobugaali mugwanga amagezi gakyabesibye olwensimbi zebanoonya okutwala team yegwanga mumpaka za Africa Continental Championships ezigenda okubeera mu Kwazul Natal ,e South Africa bwezikyabuze. Empaka zino zakutandika nga 9th okutuuka nga 14th omwezi guno. Amyuuka omuwandiisi wekibiina ekikulembera omuzannyo guno Easter Cynthia Muwonge ategezezza […]

Ebibiina by’emizannyo biwereddwa

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Akakiiko akatwala eby’emizannyo mu ggwanga kasattuludde ebibiina ebiddukanya emizannyo egitali gimu mu ggwanga. Ebibiina bino birangibwa butagoberera mateeka agaleetebwa akakiiko k’emizannyo omwaka oguwedde. Mu biwereddwa mwemuli aba FUFA ate ng’abawonye kuliko ekikola ku kuwuga n’ekikola ku mizannyo gy’ensamba ggere Ebibiina bibiri byokka okuli eky’okuwuga n’ensambaggere […]

FIGO yegasse ku bagaala ekya FIFA

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Kafulu w’eggwanga lya Portugal, Luis Figo yegasse ku lukalala lw’abo abagaala okukulembera ekibiina ky’omupiira mu nsi yonna ekya FIFA Ono w’emyaka 42 nga yazanyirako mu Barcelona, , Real Madrid ne Inter Milan yegasse ku David Ginola eyesowolayo edda okuvuganya Sepp Blatter. Abakaka kuliko Omulangira Ali […]

Yaya Tuore yesunze

Ali Mivule

January 20th, 2015

No comments

Emunyeenye ya Ivory Coast Yaya Tuore agamba nti nga bali n’omutendesi waabwe Herve Renard, bakuwangula omupiira gwaabwe ne Guinea akawungeezi ka leero. Omupiira guno gutandika ku ssaawa emu mu ggwanga erya Equatorial Guinea. Aba Ivorycoast nno bwebaba nga bakuwangula balina okunyweeza ekisenge kyaabwe okwewala okuteeba […]

Bafanabafana efulumizza olukalala

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Omutendesi wa tiimu ya Bafana Bafana Ephraim Shakes Mashaba alangiridde basajja be 11 abagenda okusookawo mu kisaawe nga bubefuka ne Algeria Omupiira guno gugenda kubeera mu kisaawe kya Stade de Mongomo era nga gutandika ku ssaawa nnya Darren Keet ali mu goolo yadde nga mu […]

Asamoah Mulwadde

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Omutendesi wa Ghana Asamoah Gyan yandisubwa omupiira gwaabwe ogusoose olw’omusujja ogumuluma Ekibiina kya Ghana eky’omupiira gw’ebigere kitegeezezza nti omukulu ono yatwalibwa mu ddwlairo ku lw’omukaaga kyokka n’asiibulwa ku ssande nga kati balinze kulaba oba anabeera n’amaanyi. Yye omutendesi wa Ghana Alain Giresse kati alina okusalawo  […]

Empaka za Africa- tiimu zesunga

Ali Mivule

January 17th, 2015

No comments

Tiimu kkumi na mukaaga olwaleero zitandika ensitaano y’okuwangula akakadde ka doola ka doola akamu n’ekitundu eri anawangula ekikopo ky’amawanga ga Africa Abanakoma ku quarter final bakufuna doola emitwalo 60 Omupiira ogusookawo guli wakati w’abakyaaizza empaka zino aba Equatorial Guinea ne Congo ku ssaawa emu Omulala […]