Ebyobulamu

Eddagala lya Kkolera lizuuliddwa

Ali Mivule

July 10th, 2015

No comments

Waliwo eddagala erizuuliddwa mu ggwanga lya Bangladesh nga ligema obulwadde bwa kkolera ate nga teriseerebwa nnyo Eddagaala lino balikuba mu kamwa. Likozeseddwa ku bantu emitwalo 26 era nga kyeyolese nti abantu abafuna kkolera n’ebitundu 37 ku kikumi. Abakugu baanirizza ebizuuliddwa nga bagamba nti eddagala lino […]

Sigala atta obwongo- mu Uganda ebbago lizze

Ali Mivule

July 10th, 2015

No comments

Ebbago ly’etteeka ku kufuweeta sigala kyaddaaki lyanjiddwa mu palamenti omulundi ogw’okubiri. Ebbago lino liwa aba minisitule y’ebyobulamu obuyinza okussa mu nkola obuwaayiro bwaalyo. Ng’ayogerako eri palamenti, akulira akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu Medard Bitekyerezo awadde palamenti amagezi okulonda atwala ebyobulamu mu minisitule y’ebyobulamu okukulemberamu akakiiko akagenda […]

Buli ddwaliro lifune amasanyalaze- Janat Museveni

Ali Mivule

July 6th, 2015

No comments

Muk’omukulembeze w’eggwanga Janet Museveni asabye minisitule ekola ku by’amasanyalaze okukola enteekateeka enagobererwa okulaba nti buli ddwaliro libaamu amasanyalaze Janet agambye nti kino kijja kusinga kuyamba abakyala n’abaana abakosebwa buli masanyalaze lwegabula Bino Janat Museveni abyogedde aggulawo olukiiko lw’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku bakyala n’abaana […]

Abaafirwa omwana bagenze mu kkooti

Ali Mivule

July 6th, 2015

No comments

Waliwo abafumbo abakubye ab’eddwaliro lye Mengo mu mbuga z’amateeka nga babalanga kuvaako kufa kwa mwana waabwe Ronald Kitaka ne Ritah Nantumbwe bagamba nti omwana waabwe yali mulamu kyokka omusawo omuyiga n’amukuba empiso eyamuddugaza omulundi gumu n’ekyaddako kufa Bano bagamba nti bazaala omwana w’obulenzi ng’azitowa kumpi […]

Obujama bususse

Obujama bususse

Ali Mivule

July 3rd, 2015

No comments

Abalwadde n’abajjanjabi ku ddwaliro lya Sembabule health center IV benyamidde olw’obujama obususse mu ddwaliro Bano okukandula ku maloboozi babadde baaniriza abakulembeze b’olukiiko oludddukanya disitulikiti ababadde bagenze okulongoosa eddwaliro nga basaaye n’okulonda kasasiro ku ddwaliro lino. Abalwadde bagamba nti embeera eno esusse nga bayinza n’okujjamu ate […]

Minisitule y’ebyobulamu yakusisinkanamu na ba global fund

Minisitule y’ebyobulamu yakusisinkanamu na ba global fund

rmuyimba

July 3rd, 2015

No comments

Minisitule y’ebyobulamu yakusisinkanamu abagabi b’obuyambi ab’ekibiina kya global fund okuteesa ku kyokuba nti eddagala eriweweza ku siriimu ligulibwa kuva mu kkolero ly’eddagala erya CIPLA quality chemicals. Kino kibikuddwa minisita omubeezi kola gunonaguli mu minisitule eno Dr.Chris Baryomunsi bweyabadde asisinkanyemu ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko […]

Teri kutunda maama Kiiti

Ali Mivule

July 2nd, 2015

No comments

Minisitule y’ebyobulamu eyisizza ekiragiro ekikwata abasawo bonna abaguza abakyala b’embuto maama kit Minisita omubeezi akola ku byobulamu Dr. Chris Baryomunsi agamba nti bu maama kiiti buno bwabwereere era omukyala yenna agenda mu ddwaliro lya gavumenti nebabumuguza asaanye okuwaaba Baryomunsi bino ebyogedde alabiseeko mu kakiiko akakola […]

Bafunye ekyuuma ky’omutima

Bafunye ekyuuma ky’omutima

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Abalwadde abakozesa eddwaliro lya Rugarama mu kibuga kye Kabale bafunye ekyuma ky’emitima Ekyuma kino ekibalirirwaamu obukadde 150 kiwereddwaawo eggwanga lya Bungereza nga liyita mu kibiina ky’obwa nnakyeewa ekya Alongside Africa. Akulembeddemu okugaba ekyuma kino Lawrence Titterton y’akwasizza atwala eddwaliro Dr Gilbert Mateka ekyuma kino n’ategeeza […]

Abafuuyira ensiri babanja

Abafuuyira ensiri babanja

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 369 abayamba mu kufuuyira eddagala ly’omusujja gw’ensiri mu disitulikiti ye Budaka tebasasulwanga Abakozi bano abaweebwa emirimu minisitule y’ebyobulamu batandika okufuuyira ssaabbiiti ssatu emabega mu gombolola 13 kyokka nga tebasasulwangako Akulira enteekateeka y’okufuuyira ebifo mu disitulikiti eno Robert Ochola agambye nti bafubye okuwaayaamu […]

Abakyala batunda mama kit

Abakyala batunda mama kit

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

Mu disitulikiti ye Lira , abakyala b’embuto bagenda okufuna ebikozesebwa mu kuzaala kyokka nebababitunda okufunamu ejjamba. Abakyala aboogerwako beebali mu divizoni ya leerwe ng’ebikozesebwa bino babiggya ku Ayago health centre III nebabitunda mu malwaliro ge miriraano ku shs omutwalo gumu n’ekitundu. Abakyala bano nno olumala […]