Ebyobulamu

Amasomero gonna gakukolanga duyiro ku buwaze.

Ivan Ssenabulya

June 29th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa . Government etegeeze nga okukola duyiro bwekugenda okufuuka okw’obuwaze eri buli somero mu uganda , nga otwalidemu n’amasomero ag’obwananyini. Bwabadde alangirira olunaku olw’okukola duyiro wano e Entebbe minister akola ku by’obulamu Dr. Jane Ruth Acenge agambye nti mukaseera kano bakolagana ne ministry […]

Pulezidenti avumiridde abavugisa ekimama.

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni atabukidde abagoba b’ebiduka abagufudde omuzze okuvuga endiima, okukakana nga bakoze obubenje. Bino webigidde nga obubenje ku nguudo ez’enjawulo bweyongedde naddala olwa Gulu- Kampala nga eno bus yakagwa  wano e  kaluma okukakana nga esse abantu abasuka mu 20. […]

Ababundabunda baakugemebwa ekirwadde kya kolera.

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2018

No comments

Bya samuel sebuliba. Gavumenti  ya uganda etegeezeza nga bwegenda okutandika okugema  abantu be Hoima abakoseddwa ekirwadde kya Cholera nga bano okusiga bebabundabunda. Okugema kuno kugenda kugassa abantu abasuka mu  mitwalo 36  mubifo 6 okuli Kyangwali, Kigorobya Kabwoya  egombolola ye Buseruka , Town council  ye kigolobya, […]

Abasawo baanukudde omukulembeze we gwanga.

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe. Ekibiina ekitaba abasawo ekya Uganda Medical Association kyanukudde omukulembeze we gwanga ku by’okwekakalaasa, nga ono yavudeyo olunaku olw’egulo nabalengezza  olw’okwekalakaasa kw’ebaalimu gy’ebuvudeko. Bweyabadde ayogerera ku lunaku lw’abakozi olw’abadde e sembabule, President yagambye nti abasawo bano baali basazeewo okuteeka government ku bunkenke okusobola […]

Kizuuse nga abantu abafa omuka omukyamu gwebasika beeyongedde.

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2018

No comments

Ssebuliba samuel Waliwo okunonyereza okukoleddwa ekitongole ekikola ku by’obulamu  munsi yonna nekizuuka nga kubuli bantu 10  mu nsi yonna, abantu  9 basika ebikaka ebikyamu ebiyinza n’okukosa obulamu bwabwe. Alipoota eno ekizudde nga abantu obukadde  musanvu  bebafa buli mwaka okwetoloola ensi yonna nga bino biva ku […]

Abaana bakugemwa ekirwadde ky’embiro.

Ivan Ssenabulya

May 1st, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses.   Ministry ekola  ku by’obulamu etegeezeza nga bwerina entekateeka ez’okutegeka okugema okwekikungo eri abaana bonna abatanaweza myaka etaano okusobola okubatangira  ekirwadde eky’embiro. Bano bagenda kuweebwa eddagala okusobola okubataasa obuwuka obuleeta obulwadde buno naddala mu baana abato. Twogedeko n’akulira  ebyokutekateeka mu kitongole ekya […]

Abantu abasoba mu 700 bajanjabiddwa.

Ivan Ssenabulya

May 1st, 2018

No comments

Bya Getrude Mutyaba. Abantu abasooba mu 700 baweereddwa obujanjabi obw’obwereere okuva mu bitongole eby’enjawulo mu lusiisira lw’ebyobulamu olubadde mu kibuga kye Lukaya ku ddwaliro lya Matovu Medical Centre. Mu ntekateeka eno endwadde ezijanjabiddwa kubadeko kookolo,mukenenya, omusujja, akafuba, lubyamira n’endala. Omusawo omukugu mu kujanjaba endwadde z’abaana Dr Margaret Ntambaazi nga yoomu […]

Govumenti tenasalawo ku ky’okuleeta abasawo okuva mu Cuba.

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses. Ministry ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bwetanakola kusalawo okw’onkomeredde ku kyokuleeta abasawo okuva mu Cuba bajje bakole mu uganda. Bwabadde ayogerako ne banamawulire, Dr. Diana Atwine  nga  ono ye muwandiisi ow’enkalakalira mu ministry eno agambye nti government mu kaseera kano ekyakubaganya  ebirwozo […]

Abavubuka baakutendekebwa ku nkola ey’ekizaala gumba.

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa. EKitongole ky’obwanakyeewa ekikola kunkola ey’ekizaala gumba ekya Reproductive health Uganda kitegeezeza nga bwekitandise okuyita mu bavubuka okusomesa banabwe enkola ey’ekizaala gumba. Twogedeko n’akulira ekitongole kino Jackson Chekwek  n’agamba nti kino baakikoze okusobozesa abaana ab’obuwala okutandika okwemanyiiza enkola eyekizaala gumba, nga amawulire gano […]

Aba Rotary baduukridde edwaliro lye Nakasongola.

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya. Wano e Nakaseke,tutegeezeddwa nga edwaliro lye Nakayonza Health Centre 3 mu gombolola ye  Lwabiyata  bweritandise okudabiirizibwa Ono kaweefube yenna eteredwamu ensimbi aba Rotary Club eya  Lugogo Mango Tree  era nga bataddemu obukadde 46. Twogedeko ne president wa w’etabi lino Robert Nsereko  n’agamba […]