Ebyobulamu

Bannakyewa sibasanyufu n’okwokya edagala okugenda okukolebwa.

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa. Ebitongole by’obwanakyeewa ebirondoola embalira ye gwanga wansi wa civil Society Budget Advocacy Group  bategeezeza nga bwebadiwalirizibwa okutwala okwemulugunya kwabwe mu parliment nga bawakanya eky’okuleka edagala nerikadiyira  mu materekero ga  gavument kyoka nga abelyetaga bangi. Bano  okuvaayo kidiridde minisitule  ekola ku by’obulamu okutegeeza […]

Abaana abafumbirwa nga bakyali bato bakendedde.

Ivan Ssenabulya

March 6th, 2018

No comments

Bya Ssebuliba samuel.   Ekitongole kyensi yonna ekikola ku byabaana ekya UNICEF  kitegeezeza  nga  abaana abafumbirwa nga bakyali bato bwebazze bakendeera munsi yonna nga ne uganda mw’ogitwalidde Bano bagamba nti abaana abasoba mu bukadde  25 bebatangiddwa okufuna embuto, ko n’okufumbirwa mu myaka ekumi egyakayita . […]

Palamenti etegese sabiiti namba ey’ebyobulamu.

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba. Tutegeezeddwa nga paraliment bwegenda okutegeka Parliamentary health week, nga eno etandika nga 20th – 23rd February 2018. Sabiiti eno egenda  kugulibwawo n’okutambula ku lw’okubiri lwa sabiiti egya era nga speaker wa parliament ya uganda yaagenda okusimbula okutambula kuno. Sabiiti eno egenderedwamu kulaba […]

Ekirwade ky’entumbi kitabukidde abatuuze be Buvuma.

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2018

No comments

Bya sadat Mbogo. Abatuuze  mu bizinga by’e Buvuma beeraliikirivu bya nsusso olw’eddagala ly’ekirwadde ky’entumbi okubula mu bitundu bino kati ebbanga lya myezi ebiri . Bano bawanjagidde government n’ebitongole eby’obwannakyewa okubadduukirira ng’ekizimba tekinnasamba ddagala. Omubaka wa president e Buvuma, Lillian Nakaweesi asuubizza nga bwali mukukwatagana nebekikwatako […]

Abatuuze be Kyegeegwa baagala kusuumusa Ddwaliro lyabwe .

Ivan Ssenabulya

January 29th, 2018

No comments

Bya Magembe sabiiti.   Abakulembeze mu district ye Kyegegwa baagala ministry y’ebyobulamu okwanguyako okusumusa edwaliro lyabwe okutuuka ku daala ely’edwaliro. Ssentebe wa district ye Kyegegwa Kisoke John agamba nti omujjuzo gw’abalwadde mu Kyegegwa Health Center 1V guli waggulu nyo ate nga tebawebwa ddagala limala ekivirako […]

Ebbula ly’edagala lya ARV lirumbye Lyantonde.

Ivan Ssenabulya

January 26th, 2018

No comments

Bya Getrude Mutyaba Tutegeezedwa nga e bbula ly’eddagala eriweweeza ku kawuka akaleeta mukenenya bwerituuse  e Lyantonde, era nga mukaseera kano lifuuse lyakugabana. Akulira eby’obulamu e Lyantonde Dr Okoth Obbo agambye nti singa  gavument teevaayo newagira ensawo ya AIDS Trust Fund, abantu bangi bolekedde okufa. Dr […]

Abateberezebwa okutta Kaweesi bakomawo mu kooti.

Ivan Ssenabulya

January 23rd, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah. Bwetugendako mu kooti, abasajja 6 abateberezebwa  okwetaba mukutta eyali ayogerera police ye gwanga Andrew Felix Kaweesi lw’ebagenda okuzibwa mu kooti basomerwe emisango egy’obujju. Bano leero bali mu  maaso g’omulamuzi w’e daala erisooka e Nakawa Noah Sajjabi okumanya police weetuse mu kunonyereza ku […]

Edagala lya ARVs liwedeyo e Mpigi.

Ivan Ssenabulya

January 22nd, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo   Kikakasiddwa nga eddagala eriweeweeza ku kawuka akaleeta mukenenya bwerikeeye mu district ey’e Mpigi nga kati abalwadde bamala ssabbiiti emu oba bbiri nga tebafunye ddagala lino okuva mu malwaliro ga gavumenti. Dorothy Nassolo nga ono ayogerera ekitongole ekitakabanira okuyambako abantu b’akawuka ka […]

Ekyuma kya kookolo kitongozeddwa.

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa. Ekyuma ekikalirira kookolo kimaze okutongozebwa wano e Mulago, nga kino kirudde ebanga nga kirindiriirwa. Bwabadde eyogerera mu kotongoza ekyuma kino,ssabaminister wa uganda Dr Ruhakana Rugunda agambye nti kino kigenda kukendeeza ku nsimbi ezibadde zigendera mu banayuganda abatwalibwa e bunayira okujanjabibwa. Ono agambye […]

Abaana abazalibwa n’obulwadde bw’emitima beeyongedde.

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa. Edwaliro erikola ku bulwadde bw’emitima elya Uganda heart institute  litegeezeza nga omuwendo gw’abaana abazalibwa n’obulwadde buno  bwegugenze gulinya buli kaddde. Ebiwandiiko ebiriwo biraga nga abaana abawerera dala 15,000  bwebazalibwa n’obulwadde buno  buli mwaka. Dr.John Omangino  akulira edwaliro lino agamba abaana 7,000  kubano […]