Ebyobusuubuzi

Lufula KCCA egitwale

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Minisita omubeezi akola ku by’okulondoola ebyenfuna alagidde ekitongole kya KCCa okweddiza lufula y’eggwanga esangibwa ku luguudo lwa Portbell road. Henry Banyenzaki nga mu kadde kano era ye minisita wa kampala asabye KCCA okutandika okuwooza abakinjaaji bano embagirawo. Ekiragiro kino kiggyidde mu kaseera nga waliwo okusika […]

Ab’omu kikuubo becanze

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Abasuubuzi mu Kikuubo bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’ababakulira aba Kikuubo Business community okubasaba omutwalo ogwa kasasiro buli mwezi. Abasuubuzi bagamba nti ensimbi zebamanyi ziri kakaaga ng’ababatwala bagaala kubakolamu nsimbi. Bano nno ensonga bazitwalako ne mu kkooti kyokka n’abasaba bateese n’abakikuubo Business community bwebigaana baddeyo

Mu kisenyi bakaaba

Ali Mivule

October 21st, 2014

No comments

Abasuubuzi b’omu Kisenyi abafiiriddwa emmaali mu muliro bambalidde abakulembeze ku mitendera egitali gimu olw’okubavaamu mu kaseera ka kazigizigi Bano emmaali yaabwe yakutte omuliro olunaku lwajjo era nga bangi leero balabiddwaako nga bazzaawo embaawo zaabwe Abasuubuzi bagamba nti babadde basuubira ku bakulembeze abamu okubakubagiza kyokka ekyewunyisa […]

Eby’abatembeeyi bitundiddwa ku nyondo

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Kampala capital city authority etandise okutunda ku nyondo ebintu byeyawamba okuva ku batembeeyi Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba nti basanze obuzibu bw amaanyi okutereka ebintu bino nga y’ensonga lwaki batunze Kawuju agamba nti basoose kusaba abatwalibwaako ebintu byaabwe okubikima kyokka nebatakikola nga y’ensonga lwaki […]

Omwoleso

Ali Mivule

October 10th, 2014

No comments

Abantu abasoba mu 30 beebakakwatibwa mu mwoleso gw’ebyobusuubuzi ogugenda mu maaso e Lugogo. Abasinga ku bano abakuumirwa ku  poliisi ya Jinja road basangibwa nga banyakula obusawo n’okusala ensawo. Anonyereza ku misango, Ronald Bogere agambye nti bano bagenda kubasengejjebwa okujjamu abakyaamu. Omwoleso guno guggaddwa minisita w’ebyobusuubuzi […]

Aba Owino bakyalwana

Ali Mivule

October 8th, 2014

No comments

Ab’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe bakontodde akulira abakozi  mu kibuga olw’okuwera empooza Musisi yaweze okukwata omuntu yenna anetantala okuwooza abasuubuzi. Abasuubuzi nno beebamulumbye okumulojjera ennaku gyebayitam u okusasula empooza ebajjibwaako Kati atwala eby’amateeka mu kibiina kya SSLOA Fred Kalema agamba nti Musisi […]

Ebbeeyi y’ebintu esse

Ali Mivule

September 30th, 2014

No comments

Emiwendo gy’ebintu gyongedde okukka mu mwezi oguwedde Kino kibaddewo yadde nga gavumenti yaleetawo emisolo ebipya naddala nga ku mafuta Omukulu mu kitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu Sam Kaisiromwe agamba nti yadde basanze obuzibu obutali bumu, basanyufu nti basobodde okulemesa emiwendo gino okupaaluka Vincent Nsubuga okuva […]

Aba Nasser bazzeemu okwekalakaasa

Ali Mivule

September 24th, 2014

No comments

Emirimu gizzemu okusanyalala ku luguudo lwa Nasser oluvanyuma lwa poliisi okukuba omukka ogubalagala mu basuubuzi  ababadde bekalakaasa lwa bbula ly’amasanyalaze. Bano batadde emisanvu mu luguudo wakati ssaako n’okukuma omuliro nga kino kisanyalazza nnyo eby’entambula. Kino kiwalirizza poliisi okubagumbulula era gyebigweredde kubakubamu mukka gubalagala. Lwo oluguudo […]

Monitor esanyudde abatunda amawulire

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Daily monitor olwaleero eyongedde okusiima abasajja n’abakazi b’oyitako nga batunda amawulire ku nguudo Buli anatunda empappula za Dailymonitor eziwera wakufunanga ekirabo Bano era olwaleero babaera baddizza abantu ebirabo ebitali bimu omuli manvuuli, emijoozi , amabaafu n’ebirala

Abantu bazze ku mata ga bipipa

Ali Mivule

September 18th, 2014

No comments

Ekitongole ekigatta abasunda mata kigamba nti omusolo ogwassibwa ku mata amalongooseemu guleeseewo okukusa mu mulimu gwaabwe Mu mbalirira y’omwaka guno, gavumenti yalangirira omusolo gwa VAT ku mata amalongooseemu n’ekigendererwa ky’okugaziya ensawo y’omusolo. Ng’ayogerera mu musomo gwaabwe, omu ku bali mu kibiina kino Robert Walimbwa agambye […]