Amawulire

Ebya Mobile mane bigenze mu kkooti

Ali Mivule

August 5th, 2014

No comments

Olutalo lw’okugyako aba Mobile Money omusolo lutuuse mu kkooti. Minisita w’ebyenfuna  Maria Kiwanuka akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakutandika kujja musolo ku mobile Money abamuwawabidde kyebagamba nti kimenya mateeka g’ebyenfuna. Joshua Tumwiine nga ono mukugu era yebuzibwako ku by’omusolo anenya Kiwanuka okubinika omusolo guno ogwa 10% […]

Aba baasi bongedde okutabuka

Ali Mivule

July 31st, 2014

No comments

  Abavuzi ba zi baasi nga beegattira mu kibiina kyaabwe ekibataba baweze okwediima KCCA k’egenda maaso n’okulemerako ku kubakuba engassi gyebatakkiriziganya nayo n’okubabinika emisolo emipya. Ezimu ku nsimbi eziteesebwako kwekuli okusasula emitwalo 54 buli mwezi, nga ate abo abattikira awatali paaka ya zi baasi naabo […]

Abakozi ba Air-Uganda bakyaali ku katebe

Ali Mivule

July 29th, 2014

No comments

Abakozi ba kamuni y’enyonyi ya Air Uganda bakujira nga balindamu ennaku 90 okulaba oba gavumenti enaddamu okukiriza kampuni eno okuddamu okukakalabya egyaayo. Abakozi 230 kati bali ku katebe oluvanyuma lw’ekitongole ekikola ku by’embuuka by’enyonyi okufuna alipoota nti kampuni eno yali  tegoberera mateeka g’ambuuka za nyonyi […]

Sukaali adibye

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

Sukaali abalirirwamu ttaani  50,000  nga abadde alina kutundibwa mu ggwanga lya Kenya akyafa tulo lwa miziziko gy’ebyobusuubuzi mu ggwanga eryo. Omu ku basuubuzi basukaali ono okuva mu kkolero lya Madhvani Jim Kabeho agamba sukaali akyabadibiridde abalirirwamu obukadde bwa ddoola 3 bulambirira. Kabeho agamba bannakenya bataddewo […]

Aba Bodaboda bawakanyizza emisolo gya KCCA

Ali Mivule

July 17th, 2014

No comments

Abamu ku bagoba ba boda boda mu Kampala baweze okusimbira ekkuuli omusolo omujja KCCA gyetegeka okubasolozamu. Mumusolo oguletebwa KCCA abagoba ba Boda Boda bakusasula emitwalo 25000 buli mwezi eri KCCA eza sticker. Abamu ku bagoba ba boda boda bagamba nti ensmbi zino yingi nyo ate […]

Abatunda emichomo bawereddwa e Kakiri

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

Abatunda emichomo ku makubo nebiribwa ebirala babayimiriza mu kibuga kye Kakiri okumala ebbanga eritali ggere. Kino kikoleddwa okulaba nti bonna bazooka kuwandiisibwa n’okwekebejjebwa okulaba nti tebafuuka ate ba bulabe eri abantu beebaguza ebintu byaabwe. Akulembedde ekibinja kyabasawo okuyimiriza abantu bano, Emmanuel Batemyetto agambye nti kibadde […]

Siteegi za Taxi endala zakusengulwa

Ali Mivule

July 15th, 2014

No comments

Siteegi za taxi endala okuva mu paaka empya zigenda kusengulwa, nga kuno kuliko eya Kibibi, Bulo, Butambala ne Gomba , nga bano kakano baakugenda mu park ya Kisenyi mu nnaku ttaano zokka, Ate bbo abakolera ku siteegi  ya Hoima ne  kiboga bagenda mu paaka ya […]

Aba St balikuddembe bafunye ekyaapa

Ali Mivule

July 9th, 2014

No comments

Abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe kyaddaaki bafunye ekyaapa ky’akatale okuva mu kakiiko akakola ku by’ettaka Kiddiridde kkooti enkulu okuwa aba KCCA ennaku 14 okuwa abasuubuzi ekyapa kyebaludde nga babanja. Omwogezi w’abasuubuzi bano Wilberforce Mubiru agamba nti kati batunuulidde kutandika kuzimba katale ak’omulembe nga beetaga […]

Ebisale by’emmotoka birinnye

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Abatunda amafuta bagamba nti tebakyasobola kwebeera kugongeza Kiddiridde silingi okwongera okunafuwa  okusinziira ku doola ate nga bakozesa doola okusubuula Mu kadde kano amafuta ga petulooli gali ku shs 3800 okuva ku shillings 3700 ate nga diesel ali ku shs 3350 okuva ku 3250. Kino kivuddeko […]

Abagula ku batembeeyi 15 bakwatiddwa

Ali Mivule

July 8th, 2014

No comments

Mu kawefube w’okutereeza ekibuga, abantu 15 beebakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti abantu bano bajjiddwa mu bitundu bya kampala ebitali bimu Kawuju azzeemu okulabula abantu obutagula ku batembeeyi bwebaba tebagaala kukwatibwa