Amawulire

Abafumbo abamaze emyaka 75 bafudde babiri

Abafumbo abamaze emyaka 75 bafudde babiri

Ali Mivule

July 3rd, 2015

No comments

Abafumbo abamaze emyaka 75 nga bali wamu basangiddwa mu buliri nga bafudde babiri Jeannete ow’emyaka 96 Toczko afudde ne Bba ow’emyaka 95  Alexander nga bukwataganye mu ngalo Bano bamu kibuga San Diego ekya California nga basisinkana ba myaka 8 nebafumbirwa mu mwaka gwa 1940 nebazaala […]

gwebasaze obubi enviiri agenze ku poliisi

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

Omukyala gwebasaze obubi enviiri ensonga zitutte ku poliisi Omukyala ono ow’enzaalwa ya Bungereza akubidde poliisi ng’agyebuzaako oba asobola okutwala ensonga eno mu kkooti Omukyala ono era ategeezeza poliisi nti agaanye okusasula kale nga ssinga nanyini saluuni abaloopera tebebuuza lwaki tasasudde

Abakazi mu Japan bagezze amabeere

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Japan , abakyala bongedde okugejja amabeere n’obuleega obutono teri agula Abatunda obuleega bagamba nti ennaku zino obuleega bwebasuubula bubadibako yadde nga luli obutono bwebubadde butunda Aba japan beebabadde basinza obuleega obutono .  

Watermelon azaabya na bisambi

Watermelon azaabya na bisambi

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

Waliwo omukyala afuuse akyelorerwa lwakwaasa Watermelon ng’akozesa ebisambi bye Omukyala ono Watermelon agissa wakati w’ebisambi olwo n’akozesa amaanyi melon n’eyabikamu Taliiko kipimo ng’ennene n’entono ezaabya kyeekimu

Afuse w’atudde

Afuse w’atudde

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

Abantu bangi banyumirwa byebakola nga wakiri emmere ebayitako Kakati yye omusajja abadde ku kyuuma kya zzaala nga tayagala kuyimuka asazeewo kufuka w’atudde Ababadde mu kifo balabye bukulukuta era okugobereza amaaso ng’omusajja ono empale ye yenna etobye

Omugoba w’enyonyia kata agikube ekigwo

Omugoba w’enyonyia kata agikube ekigwo

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Ng’abantu basimbula okutandika olugendo  basooka kwekebera kulaba oba balina buli kyebetaaga Kakati omugoba w’enyonyi abadde yakasimbula n’alengera omuntu alina amagulu ana, kati enyonyi egikube ekigwo bw’atandise okukankana Wakati mu kwetegereza Muntu kika ki ono, bakizudde nti kkapa ebadde yalinnye enyonyi

Adduse buswa okuyita mu supamaketi

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Waliwo omusajja eyeyambudde engoye  neyeyiira amata olwo n’ayita mu supamaketi ekikumi nga yenna ajjolobadde Ono adduse awogganira waggulu nti omuliro gukutte. Akatambi kano akatwatiddwa mu Bungereza nga kalaga omusajja ono mu kikolwa katunda nga keeki eyokya ku yintaneeti

Ayoya ssabbuuni

Ayoya ssabbuuni

Ali Mivule

June 16th, 2015

No comments

  Abakyala bayoya ebintu bingi nga bali mbuto nga n’ebimu byewunyisa Kati mu Bungereza, waliwo omukyala ali olubuto nga yye ayoya ssabbuuni Jess Gayford ow’emyaka 26 yatandikira ku kulya ssabuuni w’ebitole n’awoomerwa era okuva olwo tadda nga mabega .

Kkapa ebafuukidde ekyetere

Ali Mivule

June 8th, 2015

No comments

Mu kibuga Stamford, waliwo abafumbo abaddukidde ku poliisi nebawaaba kkapa yaabwe lwakubalemesa kuyingira mu nyumba Okusinziira ku sitatimenti gyebakoledde ku poliis, kkapa eno eyimiridde mu mulyango nga buli lwebagezaako okuyingira ng’ezimba n’efuuwa Omusajja agambye nti mu kugezaako okugiyitako, emukwagudde ku kugulu n’emuluma nga y’ensonga lwaki […]

Owagganye mu kaboozi asibiddwa

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Mu kibuga Birmingham, waliwo omukyala aggaliddwa lwakunyumirwa kaboozi n’awogganira na neyiba Gemma Wale  ow’emyaka , 23  awereddwa ekibonerezo kya wiiki bbiri mu kkomera lwakuwogganira balala Omukyala ono awuliddwa ng’awoggana okusukka mu dakiika 10 olwo nebayita poliisi emuyodde