Ebyemizannyo

Egy’ebika gyesibye- tebalabiseeko

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Bika kabaka

Mumpaka zemipiira gyebika bya Baganda  olunaku lwa’leero.Ennyonyi Nyange telabiseeko mukisaawe ewankulukuku nga ebadde erina okukwatagana nekika kyo’Mutyima Omuyanja.

Abakulira ekika kye’Nyonyi bo bategezezza nga bwebafuna amawulire gomupiira guno ekikerezi.

Mungeri yemu akakiiko akategesi kemipiira gino,kategezezza nga emipiira egitazanyibwa week ewedde olwokutataganyizibwa kwenkuba,gyakuzanyibwa olunaku lwenkya kulwokubiri mukisaawe ewankulukuku.

Emipiira gino kuliko e’Kkobe ne Ntalaganya wamu Namazzi Gekisasi nga gasamba Ennyonyi Nakinsige.