Ebyemizannyo

FIFA eyimirizza entegeka

Ali Mivule

June 10th, 2015

No comments

FIFA

Okulonda eggwanga elinakyaaza empaka z’ekikopo ky’ensi yonna mu mwaka 2026 kwongezeddwaayo

Ssabawandiisi wa FIFA Jerome Valcke agambye nti kibadde kijja kuba kya bwewussa okugenda mu maaso n’okulonda eggwanga erinakyaaza empaka zino wakati mu mbeera egenda mu maaso

Akalulu akanasalawo ggwanga ki erinategeka kakukwatibwa mu Kuala Lumpar mu gw’okutaano gw’omwaka 2017

Amerika y’ekulembedde ku lukalala lw’abayinza okwuangula yadde nga Canada, Mexico ne Colombia nabo bagaala okukyaaza

Rusia y’egenda okutegeka empaka za 2018 ate Qatar etegeke empaka za 2022