Ebyemizannyo

Gavumenti ya kukuuma ensimbi z’abalwadde

Gavumenti ya kukuuma ensimbi z’abalwadde

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

 

 

Ssabaminista w’eggwanga Dr. Rukahana Rugunda agamba nti bavuddeyo n’enkola empya ey’okukuumamu ensimbi okuva mu Global Fund obutabbibwa

Ng’ayogerera ku mukolo gw’okussa emikono ku ndagaano egaba ensimbi zino eziweza obuwumbi 1300, Dr. Ruhakana Rugunda agambye nti tebagenda kukkiriza Muntu yenna kwesembereza nsimbi zino nga zakujjiranga mu ddagala oba ebyuuma ebyetaagisa

Yye minisita w’ebyobulamu Dr. Elioda Tumwesigye agambye nti tebagenda kuttira liiso ku Muntu yenna anagezaako okuzanyira ku nsimbi zino kubanga za balwadde ba kafuba na siriimu sso kuliibwa

Ensimbi zino era zakukozesebwa n’okulwanyisa omusujja gw’ensiri

Mu mwaka gwa 2005, ensimbi okuva mu nsawo ya Global fund zaayimirizibwa oluvanyuma lw’okuzuulibwa nti ezaali zisindikiddwa zaali zibwebwenebwa abakulu