Ebyobulamu

Teri kuwa baana nyanto- Mexico

Teri kuwa baana nyanto- Mexico

Ali Mivule

August 12th, 2015

No comments

File Photo: Omwana nga ywera ku myanto

File Photo: Omwana nga ywera ku myanto

Gavumenti y’eggwanga lya Mexico eweze amata g’abaana abawere  agatundibwa mu malwaliro okusobola okutumbula enkola y’abamaama okuyonsa abaana baabwe.

 

Kati okufuna amata gano agaba gatabuddwamu ebirungo by’abaana omusawo alina kusooka kukakasa nti ddala tolina mabeere okugagula mu maduuka.

 

Abakyala mu ggwanga lino batono abaagala okuyonsa abaana baabwe nga omukyala omu ku musanvu bebayonsa abaana mu myezi mukaaga egisooka.

Ekitongole ky’ebyobulamu munsi yonna kiragira omukyala okuyonsa omwana wakiri emyezi mukaaga egisooka okusobola okukula obulungi.