Ebyobusuubuzi

Aba Tullow Bagonze ku misolo

Aba Tullow Bagonze ku misolo

Ali Mivule

June 22nd, 2015

No comments

Tullow

Kampuni ensimi y’amafuta eya Tullow Oil Group epondoose n’ekkiriza okusasula ssente zonna ezamagoba ku migabo gyabaguza kampuni ya CNOOC mu 2012.

Aba Tullow Oil bajja kuno okusima amafuta wabula oluvanyuma amigabo gyabwe nebagiguza ana CNOOC ab’ekitongole ekiwooza ky’omusolo kuno nebasaba obukakadde bwa ddoola 473 ku magoba gano aba Tullow kyebawakanya nebaddukira mu kkooti.

Bano baawakanya okuwozesebwa mu kkooti zakuno nebaddukira mu kkooti ya Bungereza n’ebalagira okusooka okuleka omutewa gwa 142 mu 2012 nga omusango bwegugenda mu maaso.

Wabula balabye omusango gubamegga kwekukkanya ne gavumenti yakuno wamu n’ekitongole ekiwooza okusasula ssente zonna.

Aba Tullow kati ku bukadde bwa doola 142 bakusasula ezibulayo mu mitendera essatu okumalayo ebbanja lino