Ebyobusuubuzi

Abe wa kisekka basiba bikutuka

Ali Mivule

January 14th, 2015

No comments

kisekka mkt

Kkooti enkulu wano mu Kampala egaanye okuyimiriza  okukulakulanya akatale ke Wakisekka nga bwekyasabibwa abamu ku basuubuzi.

Kino kiddiridde abasuubuzi abamu okuddukira mu kkooti nga baagala okuzimba kwonna kuyimirizibwe kubanga tebaweebwa wakulaga nga era baagala okusooka okuteeka omukono ku ndagaano eraga buli omu w’agenda okukolera.

Omulamuzi Lydia Mugamba agamba bano baagenda okuwaayo okwemulugunya kwabwe nga okukulakulanya akatale kano kugenda mu maaso kale nga okuzimba kulina okugenda mu maaso.

Abasuubuzi bano era baali baagala okuddabiriza akatale kano kukolebwe mu bitundutundu okusobozesa abasuubuzi okufuna webakolera.

Wabula munnamateeka w’abasuubuzi bano Kato Sekabanja awakanyizza ebisaliddwawo kkooti n’ategeeza nga bwebamenye amateeka ga kkooti.

Abasuubuzi bano era bazzemu okuwaaba nga bayise mu bannamateeka abalala aba  AF Mpanga and company advocates.