Ebyobusuubuzi

Ab’omukikuubo bakiise embuga.

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2017

No comments

Bya shamim Natebwa.

 

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akalaatidde abantu ba Buganda okunyikira okukola newankubadde embeera y’ebyenfuna si nyangu mu uganda.

Katikiro okwogera bino abadde asisinkanye abasuubuzi b’omu kikuubo abakiise embuga n’abakalatira okuwagiira enteekateka z’obwakabaka ezizza Buganda ku ntiko

Abasuubuzi bano bakise embuga nebagula satifikeeti z’obwakabaka n’okuwagira enkola ya luwalo lwaffe nga zonna zibalirirwamu obukadde 18.

Bano bakulembedwamu omulangira  Samuel Golooba.