Ebyobusuubuzi

Akatale ke Gulu gafudde tekannaba kutongozebwa

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

market ready

Embuyaga eyamanyi ebanduddeko akasolya k’akatala k’e Gulu akakyazimbibwa nga era kabalindiridde mukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okukaggulawo mu butongole ku nkomerero y’omwezi guno.

Kino kizze tewanayita na wiiki nga abakulira municipaali ye Gulu kyebajje bazire akatale kano nga bagamba baakazimbye mungeri ya gadibe ngalye nga era tekatuukagana na mutindo sso nga kaabulabe eri abasuubuzi.

Mu kiseera kino abasuubuzi bakolera mu bifo ebitali byankalakalira okuli  Kaunda ne  Kakanyero .

Meeya wa municipaali ye Gulu George Labeja, agamba aba kampuni enzimbi eya Dot Services omulimu gwebaakoze tegutuukagana na mutindo nga baabadde bawadde kampuni eno wiiki bbiri okutereeza ebyazimbiddwa wabula tezinaggwako akasolya mmye.

Omukubiriza w’olukiiko lwa munisipaali ye Gulu  Kelly Komakech, ategezezza nga bwekikwaasa ennaku nti embuyaga etutte akasolya kano nta akatale tekanabakwasibwa mu butongole.

Gyebuvuddeko akulira kampuni  Dot Service Mahesh Umar y’ategezezza nga bwebagenda okufuba okulaba nga buli kimu ku katale kano bakimaliriza nga tekanagulwawo pulezidenti.