Ebyobusuubuzi

Amaduuka gaggaddwa

Amaduuka gaggaddwa

Ali Mivule

June 26th, 2015

No comments

File Photo : Amaduuka nga gagadwa

File Photo : Amaduuka nga gagadwa

Ekitongole ekiwooza ky’omusolo kigadde amaduuka 6 wano mu Kampala lwabutasaula musolo.

Amaduuka gano gagaddwa wali ku kizimbe kya Energy Centre nga okusinga gabadde gatunda byamasanyalaze.

Akulira okukunganya amabanja mu kitongole kino Abdul Salam Waiswa ategezezza nga bwbatajja kukkiriza bantu kukola bzizinesi nga tebasasudde musolo nga era baakuggala n’amalala agagwa mu kiti kino.

Ekikwekweto kino kikyagenda mu maaso.