Ebyobusuubuzi

Banamateeka bebagoba mu musango gwa Sudir bajjulidde

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Kampuni zabanamateeka bbiri, MMAKS Advocates ne AFK Mpanga baddukidde mu kooti ejjulirwamu, okuwakanya kooti yebyobusubuzi eyabagoba mu musango gwa Banka ya Uganda enkulu ne nagagga Sudhir  Ruparelia.

Nga 21st December womwaka oguwedde 2017 omulamuzi wa kooti yebyobusubuzi David Wangutsi yagoba banamteeka Timothy Masembe Kanyerezi ne David Mpanga obutaworereza Bank ya Uganda enkulu olwa kyekubiira kubanga baali banamteeka ba Sudhir Ruparelia, nga bakola naye okumala emyaka 12.

Bano balagirwa okujja mu musango ngabajulizi sso ssi nga banamteeka.

Bano wabula bagamba nti bakoleranga Crane Banka sso ssi Sudir ngomuntu, omulamuzi atenga kyeyesigamako ngasala omusango guno.

Yye Shudir okuyita mu banamateeka be aba Kampala Associated Advocates bawakanya ekya Banka enkulu okuleeta Masembe and Mpanga nga banamateeka baabwe, kubanga bamanyi ebyama bingi.

Ggwo omusango ogwasooka Bank enkulu yawawabira Sudhir Ruparelia ne kampuni ye eya Meera Investments Ltd Company  olwokukkira egwanika lya Crane Banka, eyali banka ye najjamu obuwumbi 400 kyebagamba nti kyekyavaako Bnaka eno okugwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *