Ebyobusuubuzi

Bannayuganda bakaaba

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

south sudan

Bannayuganda abasuubulira mu ggwanga lya South Sudan bazzemu okubanja gavumenti ebazimbire akatale ku nsalo eyawula amawanga gombi.

Abasuubuzi bano bagamba nti okubeera n’akatale ku nsalo eyawula amawanga gano kyakubataasa okutibwa n’okufiirwa ebyabwe singa okulwanagana kuddamu mu ggwanga lya South Sudan.

Kati ssentebe w’abasuubuzi bano Rashid Manafwa agamba banaabwe banji bafiiridde munda mu ggwanga lya south Sudan lwakulemererwa kudda ku butaka wakati mu lutalo.

Abasuubuzi bano baagana okukolera mu katale akaabazimbibwa e Juba ku bukadde bwa doola 10 nga bagamba nti mu juba tewali mirembe nga basobola okulumbibwa nebatibwa.