Ebyobusuubuzi

Ebyenfuna bya Uganda byakukula mu kasoobo.

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba

Abakugu mu byenfuna  bategeezeza nga eby’enfuna bya uganda bwebitandise okukula, wabula nga kino kiri mungeri yakasobo ebitagambika.

Mumwaka gw’ebyensimbi oguwedde 2016-2017 eby’enfuna bya uganda byaakula n’ebitundu 3.9%, wabula nga kuluno ekitongole ekikola ku by’emiwendo kigamba nti byakukula n’ebitundu nga  4%.

Ramadan Goobi  nga ono mukugu mu byenfuna agamba nti olwenkuba etonya ensangi zino eby’enfuna bya uganda byakukula.

Wabula ono agamba nti newankubade guli gutyo, enkula egenda kuba yawansi bwogerageranya n’emyaka egyakayita.