Ebyobusuubuzi

Emotoka ezikozesa enamba engwira zakukwatibwa .

Ivan Ssenabulya

January 23rd, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Ekitongole ekiwooza ky’omusolo  kitegeezeza nga bwekitagenda kukoma kuyigga motoka ezirudde nga z’ebalama okuwa omusolo mu uganda.

Bino webigidde nga akawungezi akayise ekitongole kino kyakategeeza nga bwekikutte emotoka 52, nga zino zibadde zikozesa enamba engwira, kyoka nga zisusizza emyezi 3 mu gwanga nga bwekiragibwa mu mateeka.

Kati twogedeko ne Ian Lumanyika nga ono yayogerera ekitongole kino n’agamba nti emotoka nyingi zibadde zekwese mu kino, wabula kati babawemukidde , era buli allina emotoka nga eno wakukwatibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *