Ebyobusuubuzi

KCCA egobye abatundira wabweru w’amaduuka

KCCA egobye abatundira wabweru w’amaduuka

rmuyimba

July 3rd, 2015

No comments

Ekitongole kya KCCA balagidde abasuubuzi bonna abatundira ebyamaguzi byabwe wabweru w’amaduuka okwamuka ebifo bino.
Bano baweereddwa omwezi guno nga tegunaggwako okwamuka embalaza z’amaduuka.
Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju ategezezza nti baasindise dda abakwasisa amateeka baabwe okubowa ebyamaguzi byonna ebiri ku mbalaza nga era banananyini maduuka abanasangibwa nga banjadde ebyamaguzi wabweru w’amateeka bakukwatibwa bavunanibwe.
Kauju agamba okusinga kino kiri nyo mu kikuubo ne ku mini price.