Ebyobusuubuzi

Uganda yakutandika okugezesa okulunda ebyenyanja

Uganda yakutandika okugezesa okulunda ebyenyanja

Bernard Kateregga

August 25th, 2015

No comments

File Photo: Omusajja ngali ku lyato

File Photo: Omusajja ngali ku lyato

Gavumenti ya Uganda yakutandika okugezesa okulunda ebyenyanja naddala mu district ye Kalangala nga omu ku Kaweefube gwetandise okuzza amaanyi mu byobuvubi awamu n’okulinyasa omuwendo gwebyenyanja ebijibwa munyanja Nalubaale nga bitundibwa ebweeru we gwanga.

Ebyenyanja ebibadde bivubwa mu Nyanja eno bibadde bikeendede nnyo era nga abantu bangi abakola omulimu gw’okuvuba ku Nyanja tebakyaalina emilimu na Kyaakulya ekibadde kiviiliddeko bangii okutandika okubba nga awamu n’okutemula abantu banaabwe okusobola okubajjako ebintu ebivaamu ensimbi.

Mu kwogerako eri abantu be Lutoboka mu Kabuga ke Kalangala, Omubaka wa Bantu be Bujumba mu Lukiiko olukulu Fred Badda olwegwanga yategezeza nti gavumenti yamaliriza enteekateeka ey’okugezesa omulimu gw’okulunda ebyenyanja era nga District ye Kalangala omulimu guno gyegugenda okutambulira.

Badda yategeezeza nti gavumenti yakukola ebifo ebyenjawulo ebimanyiddwa nga aquaculture park abantu mu myaalo okuli Lutoboka, Mweena ne Kitobo webanalundira ebyenyanja byaabwe okusobola okulabanga abantu batendekebwa mu nunda y’ebyenyanja eyomulembe basobole okufunamu mu mulimu gwebakola nga beegase mu bibiina ebyenjawulo.

Okulunda e byenyanja e Kalangala kwatandika dda era nga abantu bangi omuli n’abebibiina by’obwanakyeewa bazze bawakanya omulimu guno nga bategeeza nga mulimu gwabagaga boka atenga gwandi yonoona enyanja.

Abantu abawelera ddala munaana beebakatandika okulunda ebyenyanja era nga Mukiseera kino cage z’ebyenyanja ziwerera ddala 50 mu bitundu okuli Lutoboka, Mweena, Kagoonya, Misonzi awamu ne kubizinga ebilara.