Emboozi

Demba Ba anaakaabya abaali bakamaabe?

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

David Silva

David Silva: City gwetunuulidde.

OMUPIIRA
Kiraabu ya Newcastle yali eragayizza oluvannyuma lw’okutunda Demba Ba, naye abazannyi Abafalansa be yaguze omuli Mapou Yanga-Mbiwa, Mathieu Debuchy, Yoan Gouffran ne musaayimuto Massadio Haidara basobola bulungi okubataasa Chelsea n’etasajjalaatira ku St. James Park.

Newcastle ne  Chelsea
Omutendesi wa Chelsea Rafa Benitez  mu kaseera w’abeera afunidde ku ssuubi ate ebizibu bimugwira n’asuula oba n’agwa  maliri, olwo abawagizi ne bamuyeeja buto. Akyalira Newcastle enkya wakati mu kiyongobero olw’okugwa amaliri ne Brentford mu za FA wiikendi ewedde! Kyokka kino  tekimutiisa nnyo kubanga Chelsea ebadde ekola bulungi ku bugenyi nga n’enkyala zaabwe ettaano ezisembyeyo bavuddeyo na buwanguzi. Yo Newcastle emipiira gyayo ebiri gy’esembye okuzannyira awaka bagikompodde ng’eri na mu kifo kya 16 mu nsengeka za Premier liigi.

Newcastle yadde nga yatunda Demba Ba gye buvuddeko n’eragaya ku lugoba oluteebi, yasobodde okugulayo Abafalansa bataano omuli Yanga-Mbiwa, Mathieu Debuchy, Yoan Gouffran ne Massadio Haidara. Bano b’eyinza okusibirako olukoba okukaabya Chelsea akayirigombe. Ekizibu kye balina kwe kuba nti babadde bazannyira mu liigi ndala nga kiyinza okubeetaagisaayo akaseera okumanyiira.

Okudda kwa John Terry kuggumizza ekisenge kya Chelsea, ekiyinza okuwa Lampard, Oscar ne Juan Mata okunoonyeza Benitez obuwanguzi nga tebeeraliikirira kifa mu kisenge. Jjukira nti abawuwuttanyi ba Newcastle nga Hartem Ben Arfa ne Cheick Tiote guno tebagenda kuguzannya. Ppaasi za Cesar Azpilicueta zaajojobya Arsenal ne Stoke gye buvuddeko era teweewuunya nga Benitez atadde Oscar oba Mata ku katebe yadde nga ne Eden Hazard ali ku kkoligo!

Yo Newcastle ewummudde ekimala kubanga yasemba okuzannya omupiira ogw’amaanyi nga January 19 ne Aston Villa. Era abawagizi essuubi balirina mu bateebi Papiss Demba Cisse ne Shola Ameobi n’abawuwuttanyi Sylvain Marveaux ne Jonas Gutierrez okubataasa.

Man City ne Liverpool
Guno gwakunyumira abalabi era gutadde omutendesi Roberto Mancini ku bunkenke. Tamanyi oba  nga kapiteeni Vincent Kompany anaazannya nga ne kaliddaluwe Mario Balotelli yasibyemu ebyanguwa n’adda ku butaka mu Yitale gy’agenda okuzannyira AC Milan mu nteekateeka empya. Yadde nga Liverpool erabika ng’etayina kigendererwa, esobola okukola ekyewuunyo, n’olaba ba kyampiyoni bwe batunula embebere!

City yaakagwa amaliri ne QPR era ekimanyi bulungi nti ensobi gy’ekola mu guno eyinza okuseerereza Man United ekkubo eriwangula ekikopo. Newankubadde City yakiwangula ku lunaku olusembayo sizoni ewedde, Mancini ne batabanibe bakimanyi bulungi nti Sir Alex Ferguson ayinza obutabaganya kukitwala mirundi ebiri egy’omuddiringanwa okuggyako nga bagisalidde amagezi.

Liverpool lwe yasemba okusisinkana City yakubwa 0-3 nga James Milner, Yaya Toure ne Sergio Aguerro be baagiteebera yadde nga mu mupiira gwe gumu ate Gareth Barry teyagumalaako bwe baamuwa kkaadi emmyufu. Mancini alina okumanya nti eby’okusajjalaatira awaka tebikyakola era alina kukola nnyo okulaba ng’awona ekibambulira okuva eri omulabe. Alina eddibu lya Yaya Toure, ali mu Afcon e South Africa, kyokka alabika kumusikiza Milner okusobola okuwamba amakkati. Stewart Downing ne Raheem Sterling balina okwefunza wingi zombi okusobola okukolera Luis Suarez ne Daniel Sturridge emikisa omuva ggoolo. Kino okutuukirira, Liverpool erina okukakasa nti Jordan Henderson, kapiteeni Steven Gerrard ne Joe Allen tebasumagirira mu makkati abateebi ba City ne babayita ku lugwanyu.