Emizannyo

Museveni akubidde cranes essimu-abagumiza okukuba Guinea

Ali Mivule

November 18th, 2014

No comments

Micho talks to M7 on phone

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Kaguta Museveni  akubidde enkambi ya Uganda Cranes essimu e Morocco era n’abazzamu amaanyi.

pulezidenti  awadde  omutendesi wa Cranes Micho Sredejovic ku bukodyo bw’okuwangula omupiira gwebagenda okuzannya n’eggwanga lya Guinea olunaku olwenkya era n’abawa amagezi  obutazanyira ku puleesa okusobola okumegga Guinea.

Yye kapiteeni wa Cranes  Andy Mwesigwa ategezezza nga bwebagenda okufiirawo okumegga Guinea  okusobola okwesogga empaka za Africa mu Equatorial Guinea..

 

Cranes bali mu kifo kyakubiri ku bubonero 7 emabega wa Ghana erina obubonero 8 nga era yetaaga kugwa maliri okwesogga eza Africa omwaka ogujja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *